Moses Golola akeesezza General Fungu ensambaggere

KAWANDA bigambo GOLOLA Moses ‘Of Uganda’ akesezza Hamza Keeya ‘General Fungu’ ensambaggere n'akirizza.Olulwana luno lubaddewo mu kiro ekikeesezza leero (Lwakubiri) December nga 27, 2022.

Moses Golooa ng'attunka ne Fungu
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision

KAWANDA bigambo GOLOLA Moses ‘Of Uganda’ akesezza Hamza Keeya ‘General Fungu’ ensambaggere n'akirizza.

Olulwana luno lubaddewo mu kiro ekikeesezza leero (Lwakubiri) December nga 27, 2022.

Lubadde ku Akamwesi Mall e Kyebando ekisangibwa ku Gayaza Road nga lwetabiddwaako nnamungi w’omuntu.

Golola aluwangulidde ku bubonero 49-46, 50-45 ne 47-48.

Battunkidde mu buzito bwa ‘middle’ kiro 79 mu nwana ya K1 Style omuli okukozesa teke, ebikonde n’amaviivi.

Lwetabiddwaako ba sereebu okuli abayimbi Pallaso, John Blaq, Catherine Kusasira, Zex Birangirangi, Judith Heard ow’emisono n’abalala.

Ku lulwana lwe lumu kubaddeko fayinolo ya liigi y’eggwanga ey’ebikonde emanyiddwa nga UBF Boxing Champions League.

Golola ng'attunka ne Fungu

Golola ng'attunka ne Fungu

Mu nwana ezisinze okukwaata akati Isaac Zebra Ssenyange Jr awangudde Muzamir Ssemuddu ku bubonero 3-2 kyoka abawagizi balwaanye nga bawakanya ebisaliddwaawo ba ddifiri be balumirizza okubira Ssenyange Jr.

Ssenyange Jr. ye mutabani w’omugenzi Zebra Ssenyange.

Mu nwana endala Ukasha Matovu akubye Owen Kibira ku bubonero 4-1.

Jonathan Kyobe naakubaDerrick Mubiru ku bubonero 5-0, Joshua Tukamuhebwa amezze Edward Kimera ku bubonero 5-0 nendala.