Ebyemizannyo

Bamusaayimuto bafunye ebikozesebwa mu kuzannya omupiira

Agambye nti bafunye ettaka okuzimbako amasomero, ebisaawe by’omupiira n’eddwaaliro. Atunuulidde okutandika okutwala abazannyi abalungi bafune omukisa okusambiramu mu Amerika kuba yatandikayo akademi eyitibwa Alpha Soccer Academy mu kibuga Charlotte ne Rockhill.

Kalungi ng'alonda emijoozi okugigabira abaana.
By: Silvano Kibuuka, Journalist @New Vision

Eyaliko omuzibizi wa Cranes, Henry Kalungi agoberedde omukululo gw’abaaliko abazannyi Jackson Mayanja ne Andy Mwesigwa okutandikawo essomero eritumbula ebitone bya bamusaayimuto mu mupiira.

Ono ayitidde mu kibiina kya Henry Kalungi Foundation ekimaze kati emyaka mukaaga mu Uganda. Kalungi kati ali mu Uganda mu luwummula, yasisinkanye bamusaayimuto okuva mu akademi z’omupiira mukaaga ku kisaawe kya Buganda Road n’aziwa ebikozebwa okuli engatto, emijoozi, ‘shin gurds’ enkampa z’abakwasi ba ggoolo n’ebirala.

Abaana abato mu bitundu okuli Katanga, Makerere n’ab’oku nguudo ne bazadde baabwe nabo baafunye engoye n’engatto.

Bamusaayimuto baabagabudde ekijjulo.

Bamusaayimuto baabagabudde ekijjulo.

Oluvannyuma Kalungi mu kibiina kye ekya Kalungi Foundation yagabudde bamusaayimuto ekyemisana okuyingira omwaka 2023 nga baasoose kubanaaza ne babawa engoye n’engatto ebipya. Yategeezezza nti kye bakola si kweraga wabula okuwa abaana ebifaananyi ekirungi n’essuubi mu maaso mu kaweefube w’okufuna abaana abalina ttalanta mu kusamba omupiira.

Agambye nti bafunye ettaka okuzimbako amasomero, ebisaawe by’omupiira n’eddwaaliro. Atunuulidde okutandika okutwala abazannyi abalungi bafune omukisa okusambiramu mu Amerika kuba yatandikayo akademi eyitibwa Alpha Soccer Academy mu kibuga Charlotte ne Rockhill.

Ezimu ku akademi ezaaganyuddwa kwe kuli; Shallon Soccer Academy ne Devine Sports Foundation okuva mu Lubaga ne Universal Soccer Academy ku Buganda Road.

Kalungi (ku ddyo) n'ebimu ku bintu bye yagabye.

Kalungi (ku ddyo) n'ebimu ku bintu bye yagabye.

Kalungi omupiira yagutandikira mu Kibuli SS n’agenda mu Amerika gye yatandikira ogw’ensimbi mu ttiimu y’abato eya Winthrop Eagles wakati wa 2006-2008.

Kalungi yeegatta ku Fredericksburg Gunners wakati wa 2008-2014 oluvannyuma ne yeegatta ku Charlotte Independence gye yasambira wakati wa 2015-2018.

Wabula wakati wa 2011-2013 yasambira ku bbanja mu Proline FC (eya Uganda) ne Carolina Rail Hawks. Wakati wa 2011-2015, Kalungi yali omu ku bazibizi ba Cranes.

Tags:
Henry Kalungi
Cranes
Henry Kalungi Foundation
Rockhill
Charlotte

Emboozi Ezifanagana