Meeya yeeyamye okulwanirira ebisaawe ebitwalibwa abagagga

Feb 21, 2023

“Nga omukulembeze ate eyaliko omuzannyi, ntandise okugitumbula nga nkozesa ssente za Town Council n’abavujjirizi. Tugenda kulwana okununula ebisaawe nga Kitegombwa ne Wampeewo abagagga bye batandise okukaayanira babitwale. Twagala okubirabirira bibeeremu omuddo wabula ng’ekizibu ze ttiimu ennyingi ezibikozesa.”

NewVision Reporter
@NewVision

Kasangati Mayor's Cup:

Young Money FC 4-1 Gayaza FC

Mu kubaka;

Kabanyoro 27-21 Gayaza Ladies

Tom Muwonge eyaliko omuzannyi wa KCC FC ne SC Villa naye nga kati Meeya wa Kasangati Town Council, asuubizza okwongera amaanyi mu mizannyo asobole okutumbula ttalanta n’abaana b’omu kitundu nga bwe yasuubiza mu kampeyini.

Yabyogeredde ku fayinolo y’empaka z’emiruka ze yassaawo mu kitundu ekyo nga zaabadde za mupiira gw’abasajja n’okubaka. Zimaze emyezi ebiri nga zitojjera nga zaakomekkerezeddwa ku kisaawe kya Gayaza Lufula ku Ssande.

Muwonge yagambye nti agenda kufunvubira okulaba ng’ebisaawe ebikuzizza abazannyi mu kitundu okuli Wampeewo ne Kiteegombwa binunulwa bidde mu mikono gy’abantu kuba bamusigansimbi batandise okubisaanyaawo.

Yeebazizza Fr. Jude Makanga ow’ekigo ky’e Gayaza okutuukiriza bye yasuubiza okutunda ekisaawe ky’e Gayaza n’abateekerawo ekirala ekiriraanye Lufula kati abantu kye kakozesa.

Florence Muwonge (mu bbulu) ng'akwasa aba Kabanyoro ekikopo ky'okubaka.

Florence Muwonge (mu bbulu) ng'akwasa aba Kabanyoro ekikopo ky'okubaka.

Ttiimu 18 ze zaavuganyizza mu mupiira n’ez’okubaka mukaaga okuva mu miruka mwenda. Young Money FC yeeriisizza nkuuli mu mupiira bwe yakubye Gayaza FC ggoolo 4-1 ku fayinolo.

Hassan Mubiru (atali wa Express) ye yanywedde mu bade akendo mu kuteeba ne ggoolo 11 sso nga omukwasi wa ggoolo George Semakula ng’ono y’akwatira Ekika ky’Olugave ye yasinze baggoolokipa.

Mubiru (ku kkono) ng'attunka n'omuzannyi wa Gayaza.

Mubiru (ku kkono) ng'attunka n'omuzannyi wa Gayaza.

Ku fayinolo, Mubiru yateebye ggoolo bbiri endala ne ziteebwa Isaac Juuko ne Kenneth Kimera. Mubiru yakwasiddwa engatto y’omupiira empya sso nga Ssemakula yafunye enkampa (ggiraavu) ez’omulembe. Mu kubaka, Meeme Nabukalu owa Kabanyoro ye yalidde eky’obuzannyi w’empaka.

Muwonge eyabadde ne bazadde be Joseph Muwonge ne Florence Muwonge, omubaka omukazi owa Palamenti owa Wakiso, Betty Naluyima wamu ne bakkansala ba Kasangati, baakwasizza abawanguzi ebirabo.

Hassan Mubiru (ku kkono) ne Ssemakula nga bafunye ebirabo byabwe.

Hassan Mubiru (ku kkono) ne Ssemakula nga bafunye ebirabo byabwe.

“Nga omukulembeze ate eyaliko omuzannyi, ntandise okugitumbula nga nkozesa ssente za Town Council n’abavujjirizi. Tugenda kulwana okununula ebisaawe nga Kitegombwa ne Wampeewo abagagga bye batandise okukaayanira babitwale. Twagala okubirabirira bibeeremu omuddo wabula ng’ekizibu ze ttiimu ennyingi ezibikozesa,” Meeya Muwonge bwe yategeezezza.

Young Money yafunye ekikopo, ente n’emijoozi ate aba Gayaza ne bafuna ekikopo, embuzi n’emijoozi. Abakazi ba Kabanyoro baafunye ekikopo ne kimeeme w’embuzi. Muwonge yasuubizza nti empaka zino zaakuddamu omwaka ogujja.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});