Ebyemizannyo

Kkiraabu ya Lugazi-Wagonda esitukidde mu mpaka z’amaato eza ‘Team MK Boat Racing

Empaka zino ze zisoose okuzannyibwa era zaategekeddwa aba Team MK

Kkiraabu ya Lugazi-Wagonda esitukidde mu mpaka z’amaato eza ‘Team MK Boat Racing
By: Fred Kisekka, Journalist @New Vision

Kkiraabu ya Lugazi-Wagonda esitukidde mu mpaka z’amaato eza ‘Team MK Boat Racing’ ezibumbujjidde ku mwalo gw’e Katosi mu disitulikiti y’e Mukono.

Abamu Ku Bavulumuzi B'amaato Nga Babbinkana.

Abamu Ku Bavulumuzi B'amaato Nga Babbinkana.

Empaka zino ze zisoose okuzannyibwa era zaategekeddwa aba Team MK eya mutabani wa Pulezidenti Museveni, Gen. Muhoozi Kainerugaba.

Kkiraabu 15 ze zizeetabyemu ng’awamu abavulumuzi b’amaato abasobye mu 100 be bazeetabyemu.

 

Kkiraabu ya Lugazi Wagonda emezze Katosi Mwaalo ne Bugula Rowing Team bwe zibadde ku mbiranye.

Empaka zino zaavugiddwa kkirommita 15 okwetooloola ekizinga ky’e Katosi. Balaam Barugahara ye yabadde omugenyi omukulu nga yakiikiridde Michael Nuwagira amanyiddwa nga Toyota, muto wa Pulezidenti Museveni.

Ttiimu zonna ezizeetabyeemu ziweereddwa ebirabo omubadde ssente n’ebikozesebwa era bakyampiyooni aba Lugazi baagattiddwaako ekikopo ne sseddume w’embuzi.

 

Tags:
Ebyemizannyo
MK Muhoozi
Team MK