Owa Bukedde TV asiimiddwa
Mar 13, 2023
"Nneebaza Obwakabaka okutulowoozaako nga bannamawulire nga kino kituzzaamu amaanyi era nga kitulaga nti omulimu gwaffe tegunyoomebwa."

NewVision Reporter
@NewVision
OMUSASI wa Bukedde TV 1, Arnold Bwembe asiimiddwa akakiiko akategesi k'empaka ezivuganyizibwamu Ebika bya Buganda olw'omumirimu gw'akoze okulaba nga zitambula bulungi.
Ku mukolo ogwabadde ku kisaawe kya Muteesa II Stadium e Wankulukuku, Endiga bwe yabadde ekuba Olugave (1-0), abategesi b'empaka zino baawadde bannamawulire emidaali okubeebaza okutumbula emipiira gy'Ebika nga ne Bwembe mwe yabadde.
"Nneebaza Obwakabaka okutulowoozaako nga bannamawulire nga kino kituzzaamu amaanyi era nga kitulaga nti omulimu gwaffe tegunyoomebwa," Bwembe bw'agamba.
Omudaali guno gwamukwasiddwa Katkikiro wa Buganda, Peter Mayiga.
No Comment