Empaka z’omuzannyo gwa Woodball eza Ndejje University Woodball Open Tournament ez'omulundi gwa 12 ezaabadde zirina okubaawo eggulo ku Lwomukaaga zijjuluddwa okdda ku lunaku olutannategeerekeka.
Empaka zino zibadde zisuubirwa okwetabwamu abazannyi abali mu 200 nga kuliko amasomero, kampuni wamu n’ebitongole kwossa ne kiraabu.Ebbaluwa Eyawandikiddwa Akulira Eby'emizannyo Ku Ndejje University Nga Eyongezaayo Empaka Zino
Okusinziira ku kiwandiiko ekisiddwako omukono Ivan Drake Karimunda, akulirira eby’emizannyo ku Ndejje University, kirambika nti ensonga eziteebeereka ze ziviiriddeko okwongezaayo empaka zino.Karimunda wabula ategeezezza nti ennaku z’omwezi empya zijja kulangirirwa mu bbanga eritali lya wala.
Empaka zino zibadde zaakuyindira ku Ndejje University mu Luweero.