ABASERIKALE ba poliisi baanyiyizza ttiimu y’abavubuka be Ghetto z’e Nansana omupiira bwe baabakubye (4-1) mu mupiira ogw’okunyweza enkolagana wakati wa poliisi n’omuntu wa bulijjo. Omupiira guno gwategekeddwa RDC wa Nansana Nsubuga Ali.
Nsubuga yagambye nti basazeewo okunyweza enkolagana wakati waabwe n’abavubuka ba Ghetto, bangi be balowooza nti beenyigira mu bumenyi bw’amateeka nga baagala okulaba ng’amaanyi ge bassa mu bikolwa bino bagazza mu bintu ebibayamba okwongera ku nnyingiza yaabwe.

DPC Tayebwa ng'alina by'alaga RDC.
DPC wa Nansana, Sp Apollo Tayebwa omu ku baazannye omupiira guno yakinogaanyizza nga bwe baagala okulaba ng’abatuuze n’ebintu byabwe bikuumibwa okwewala abamenyi b’amateeka. N’agattako nti baagala bagonjoola obutakkaanya obubaddewo wakati wa poliisi n’abavubuka b’omu Ghetto.
Oluvannyuma lw’omupiira, waabaddewo n’emisinde gy’okwetooloola ebyalo wakati wa poliisi n’abavubuka ba Ghetto nga gino gyawanguddwa aba Ghetto abaakamudde abaserikale entuuyo.
Ssentebe wa divizoni y’e Nansana, Ssaalongo Joseph Matovu yasiimye poliisi olwa kaweefube ono n’agibasa okukwatagana n’abakulembeze okumalawo obumenyi bw’amateeka.