Ttiimu ya Nsimbe erwana kwesogga Big League
Apr 03, 2023
Mu mipiira egyazannyiddwa ku Ssande mu kibinja kya Ssezzibwa, Manyangwa yalemaganye (0-0) ne Lugazi Municipal, Seeta United n’ekuba Kira United (2-1), Kiyinda Boys n’etimpula Kajjansi United (5-1), Super Eagles n’emegga Masaka City (1-0) n’emipiira emirala.

NewVision Reporter
@NewVision
Liigi y’ekibinja ekyokusatu eya FUFA Buganda Regional League eyogedde okuzibuwala nga mu kiseera kino kizibu okumanya ani anaayitamu okugenda mu Big League Uganda.
Mu mipiira egyazannyiddwa ku Ssande mu kibinja kya Ssezzibwa, Manyangwa yalemaganye (0-0) ne Lugazi Municipal, Seeta United n’ekuba Kira United (2-1), Kiyinda Boys n’etimpula Kajjansi United (5-1), Super Eagles n’emegga Masaka City (1-0) n’emipiira emirala. Young Simba FC ekulembedde n'obubonero 32, Lugazi Municipal FC 31, Sparks SC 30 ate Manyangwa FC 29 ne Kira FC erina 28.
Nsimbe owa Manyangwa.
George 'Best' Nsimbe eyali owa KCCA atendeka Manyangwa FC yagambye nti alina okuwangula empiira gyonna egisigaddeyo asobole okutwala Manyangwa FC mu Big League. Mu kibinja kya Katonga, Kiyinda Boys y’ekulembedde n'obubonero 38, Buwambo FC 38, Kajjansi United FC 31 ate Super Eagles 30.
Ebulayo emipiira 4 liigi eggwe era anaawangula ekibinja kya Katonga ajja kwatagana n’anaawagula ekya Ssezzibwa bafuneko agenda mu Big League.
No Comment