Aba Brown Boxing beepikira liigi y'eggwanga ey'ebikonde

KKIRAABU ya Brawn Boxing Club ewera kutandikira mu maanyi mu liigi y’eggwanga eya UBF Boxing Champions League ey’omwaka guno.

Aba Brown Boxing beepikira liigi y'eggwanga ey'ebikonde
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision

KKIRAABU ya Brawn Boxing Club ewera kutandikira mu maanyi mu liigi y’eggwanga eya UBF Boxing Champions League ey’omwaka guno.

Liigi eno eyakutte akati mu sizoni yaayo eyasoose 2021/2022 yaakuggyibwako akawuuwo nga April 29, omwaka guno ku MTN Arena e Lugogo.

Alfredo Ojok kapiteeni wa Brawn Boxing Club mu kutendekebwa.

Alfredo Ojok kapiteeni wa Brawn Boxing Club mu kutendekebwa.

Okusinziira ku Musa Kajoba Mpindi omutendesi wa Brawn Boxing Club, beetegefu okubbinkana ne kkiraabu zi kirimaanyi mu liigi eno era balubirira kutandikira mu maanyi.

Mpindi agamba olukoba baalusibidde ku kapiteeni waabwe Alfred Ojok eyawangudde omudaali gwa zzaabu mu buzito bwa ‘Middle’ mu mpaka za National Open Boxing Championship ezaazanyiddwa mu February w’omwaka guno.

Abazannyi abalala kw’asibidde olukobwa kuliko Aisga Namagembe ow’obuzito bwa Bantam, Leilla Nalule (Feather) Zennah Nakulima (Light Fly) n’abalala.

Rodgers Kenneth Kamurasi ne Wyclef Musinguzi banyini kiraabu eno baategeezezza nti beetegese ekimala era bagumu nti okuvujjirira kwe bawadde abazannyi okuli ensako yaabwe byongedde akabugumu mu nkambi yaabwe.