Bya Wasswa b. Ssentongo
BANNABYAMIZANNYO baguddemu ekyekango eky’okufa kwa Stuart Mutebi Kiwanuka, omu ku bannamawulire abagundiivu mu kwogerera omupiira ku leediyo.
Stuart Mutebi, eyayatiikirira ennyo mu kuweereza omupiira ku Radio Uganda, CBS ne Super FM, abadde mutuuze w’e Maganjo mu Ggombolola y’e Nabweru. W’afiiridde nga mukozi ku leediyo ya Star FM.
Amaze emyaka ena ng’alumizibwa okuva bwe yafuna obulwadde bw’okusannyalala. Charles Bwanika Sensuwa, mukwano gwe era mukozi munne ku Star FM yagambye nti, “Stuart y’omu ku baatandika okwogerera emipiira ku CBS nga bali ne Francis Kyeyune. Baali n’omugenzi Mulindwa Muwonge n’eyaliko omubaka, Peter Sematimba, gye baava okutandika Super FM gye yamala ebbanga eddene.
Embeera mu maka g’omugenzi e Maganjo yabadde ya kimpoowooze okuva ku Lwomukaaga.
Kansala w’ekitundu, Nicholas Luberenga yagambye nti basaaliddwa nnyo Stuart Mutebi nga babadde baamukazaako lya ‘Muwabuzi’ olw’okuwabula ennyo abavubuka naddala abatalina mpisa mu nsiike y’ebyemizannyo.
FUFA, ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga nakyo kyakungubagidde omugenzi ne kisaasira bannansi okuviibwako empagi y’emizannyo..
Omugenzi aziikibwa nkya ku Lwokubiri e Kasokoso okumpi ne Kireka mu Munisipaali y’e Kira.