Okusooba kw'ab'ebika kukyalemesezza emipiira okutandika

May 24, 2023

Oluzannya olusooka lwabadde lulina kutandika leero (Lwakusatu) nga May 24, nga Enjovu etuunka ne Nkula, Enjobe ne Nakinsinge, Obutiko ne Nsuma ate Enkusu na Mazzi ga Kisasi, wabula kati gyasindikiddwa ku Lwokubiri lwa wiiki ejja nga May 30.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAKULEMBEZZE ba ttiimu z’ebika bakyalemereddwa okuzaayo layisinsi z’abazannyi be bagenda okuzannyisa z’omwaka guno mu budde nga bwekyali kirambikiddwa. Kino kiwalirizza abategesi okuzongezaayo.

Oluzannya olusooka lwabadde lulina kutandika leero (Lwakusatu) nga May 24, nga Enjovu etuunka ne Nkula, Enjobe ne Nakinsinge, Obutiko ne Nsuma ate Enkusu na Mazzi ga Kisasi, wabula kati gyasindikiddwa ku Lwokubiri lwa wiiki ejja nga May 30.

Abanaayitawo mw’egyo, baakwegatta ku banaayitawo mu ginaazannyibwa nga May 31, okuli  Entalaganya ne Mbwa, Empeewo ne Nnyange, Nvubu ne Nkejje, Nvuma ne Kibe, Endiisa na Akayozi, bagende ku luzannya olwokubiri olutandika nga June 6.

Omuwandiisi w’akakiiko akategeka empaka zino, Gerald Katamba agambye nti, “Nkubirizza ttiimu z’ebika zonna okukomyawo layisinsi n’ebiwandiko byonna ebyabawebwa nga bijjuziddwa bulungi obutasukka Lwakuna nga May 25 ssaawa 10:00 ez’akawungeezi.

Empaka z’omwka guno zaakuzannyibwa mu bisaawe okuli; Wankulukuku, Wakissha e Wakiso, eby’amasomero okuli Kawanda SS ne Budo SS.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});