Ttiimu ya Handball w'oku musenyu ntaka e Tunisia,

Jun 23, 2023

TTIIMU y’eggwanga ey’abakazi b’omuzannyo gwa Handball w’oku musenyu bataka mu kibuga Hammamet ekya Tunisia gy’egenze okwetaba mu mpaka za Afrika ez’omulundi ogwokubiri mu byafaayo .

NewVision Reporter
@NewVision

TTIIMU y’eggwanga ey’abakazi b’omuzannyo gwa Handball w’oku musenyu bataka mu kibuga Hammamet ekya Tunisia gy’egenze okwetaba mu mpaka za Afrika ez’omulundi ogwokubiri mu byafaayo .

Ttiimu Ya Handball Eya Bbiici lwe yali mu lukung'aana lwa bannamawulire.

Ttiimu Ya Handball Eya Bbiici lwe yali mu lukung'aana lwa bannamawulire.

Bano baasitudde mu kiro ekyakeesezza eggulo ku Lwokuna nga June 22, 2023 okuva ku kisaawe Entebbe nga beeyambisa ennyonyi ya Ethiopian Airlines.

Kati balinze ffirimbi eggulawo ensiike yaabwe esooka nga battunka ne Tunisia abategesi wamu ne Algeria ku Lwomukaaga enkya nga June 23, 2023.

Ttiimu Ya Handball Eya Bbiici Bwe Baabadde Basimbula Ku Kisaawe E Ntebe

Ttiimu Ya Handball Eya Bbiici Bwe Baabadde Basimbula Ku Kisaawe E Ntebe

Ekibinja kya bazannyi 8 n’abakungu babiri be baasiibuddwa pulezidenti w’ekibiina ekifuga omuzannyo guno mu ggwanga Sheila Richardson Agonzibwe ku Offiisi zaabwe ezisangibwa ku William Street mu Kampala.

Ttiimu ebadde emaze omwezi gumu ng’eri mu nkambi ku yunivaasaite y’e Ndejje gy’ebadde etendekerwa wabula ku bazannyi 15 abaabaddeyo omutendesi Ismail Bazannye yasazeeko 7.

Zikomekkerezebwa nga June 30, 2023 era guno gwe mulundi gwa Uganda ogusoose okukiika mu mpaka zino ku mawanga 5 agagenda okwetabamu okuli; Kanya, Mali, Algeria ne Tunisia abategesi.

Bakapiteeni Ba Ttiimu Zino.

Bakapiteeni Ba Ttiimu Zino.

Uganda erina okulwana okumalira mu bifo 4 ebisooka ebya ttiimu eziyitawo butereevu okwesogga ez’ensi yonna ‘ANOC World Beach Games’ ezinaazannyibwa mu kibuga Bali ekya Indonesia wakati wa August 5-12, 2023.

Nasiimu Mutesi Kapiteeni wa ttiimu yagumizza Bannayuganda nti okutendekebwa kwe bafunye kubamala okufuna obuwanguzi era batunuulidde kukiika mu z’ensi yonna.

Bano baayingira enkambi nga banoonya obuwumbi 43 okusobola okukiika mu mpaka zino wabula okusinziira ku Sheila Richardson Agonzibwe, pulezidenti w’omuzannyo, abazirakisa babadduukiridde mu nkola y’okuyisa akabbo.

 

 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});