Isabirye ne Magera balwanira ngule ya butendesi bwa sizoni ewedde

Jul 05, 2023

Enkya ku Lwokuna abawagizi lwe bamanya anaawangula eky’obuzannyi n’obutendesi bwa sizoni ng’ebifo ebiriko okuvuganya kuliko eky’omuzibizi, omuwuwuttanyi, omuteebi n’ebirabo ebirala.

NewVision Reporter
@NewVision

Abazannyi n’abatendesi abaasunsulwamu ku buzannyi n’obutendesi bwa sizoni ewedde mu liigi ya StarTimes Uganda Premier League bali ku bunkenke nga buli omu asabirira y’aba awangula eky’obuzannyi n’obutendesi bwa sizoni ewedde.

Enkya ku Lwokuna abawagizi lwe bamanya anaawangula eky’obuzannyi n’obutendesi bwa sizoni ng’ebifo ebiriko okuvuganya kuliko eky’omuzibizi, omuwuwuttanyi, omuteebi n’ebirabo ebirala. Abawanguzi baakulangirirwa ku mukolo gw’okubeera ku Serena Hotel mu Kampala.

Ssenfuma (ku kkono) n'ayogera n'owamawulire.

Ssenfuma (ku kkono) n'ayogera n'owamawulire.

Mohammed Ssenfuma owa Maroons FC, Alex Isabirye (Vipers SC) ne Jackson Magera (eyali mu Villa) be bavuganya ku ky’omutendesi wa sizoni. Isabirye yayambye Vipers okuwangula ekikopo kya liigi ekyomukaaga ssaako ekya Uganda Cup.

Magera yabadde ne sizoni ennungi bwe yabuzeeko katono okuwangulira Villa ekya liigi kyokka Vipers n’ekimusuuza ku mupiira gusembayo bwe yakubwa URA (1-0).

Magera

Magera

Ssenfuma eyali agobeddwa ng’ekitundu kya sizoni ekyokubiri kitandika nga Maroons eyagala kumusikiza Sam Ssimbwa, yeewuunyisizza bangi bwe yalwanye ttiimu n’emalira mu kyomukaaga.

Abalala abavuganya;

Omuzannyi wa sizoni; Milton Karisa (Vipers), Simon Tamale (Maroons), Charles Bbaale (SC Villa).

Baggoolokippa: Simon Tamale (Maroons), Hassan Matovu (Bright Stars), Nafian Alionzi (URA FC).

Abazibizi; Warren Buule (Bright Stars), Hillary Mukundane (Vipers), Gift Fred (Villa).

Abawuwuttanyi: Wahab Gadafi (Arua Hill), Laban Tibita (Busoga United), Lawrence Bukenya (Wakiso Giants)

Omuzannyi omuto: Saidi Mayanja (KCCA), Patrick Kakande (Villa), Darius Ojok (Maroons).

Ebifo ebirala kuliko; omuteebi wa sizoni, omuzannyi eyasinze okuteekawo emikisa gya ggoolo, omuzannyi wa sizoni, ttiimu ya sizoni, ttiimu esinze empisa n’ekirabo ekijjukira munnabyamizannyo ow’ebyafaayo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});