SMACK eraze eryanyi ng'ekutula emitima gya Kiira College Butiki

Gift Fred Mutalya, muyizzitasubwa wa Butiki, ye yasoose okulengera akatimba, abawagizi ba Kiira College Butiki ne batandika okuyimba ennyimba ezisuuta abazannyi baabwe saako n’okuwerekereza aba SMACK ebigambo nti tebamanyi mupiira.

Abawagizi ba SMACK nga basanyukira obuwanguzi.
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision
#FUFA TV Cup #SMACK #Kiira College Butiki #Wankulukuku #Jimmy Ambayo

GRIFFIN Mwesigwa omuteebi wa SMACK (St Mary's College Kisubi) ye yabadde omuzira w’olunaku bwe yakutudde emitima gy’abayizi n’abazannyi ba Kiira College Butiki mu kisaawe e Wankuluku ku fayinolo za FUFA TV Cup. 

Mwesigwa yateebye ggoolo ey’obuwanguzi mu ddakiika y’e 90. Kino kyakutudde amawagizi ba Kiira College Bitiki emitima kuba baabadde beesunga kugenda mu bunnya.

Gift Fred Mutalya, muyizzitasubwa wa Butiki, ye yasoose okulengera akatimba, abawagizi ba Kiira College Butiki ne batandika okuyimba ennyimba ezisuuta abazannyi baabwe saako n’okuwerekereza aba SMACK ebigambo nti tebamanyi mupiira. 

Byabadde bikyali awo Jimmy Ambayo n’abasirisa bwe yateebye ey’ekyenkanyi era omupiira gwagenze okuwumula nga guli ggoolo (1-1). 

SMACK yakomyewo mu kitundu ekyokubiri n’essa akazito ku bazibizi ba Kiira College Butiki abaatuuse okuggwaamu amaanyi ng’omupiira gunaatera okuggwa era wano Mwesigwa n’ateeba ey’obuwanguzi. 

SMACK yalangiriddwa nga bannantameggwa b’empaka za FUFA Tv Cup bwe yawangudde ggoolo 2-1 n’eweebwa kavvu wa 3,000,000/- n’ekikopo sso nga yo Butiki yasitukidde mu bukadde 2,000,000/-. 

Olukol Ernest owa Kiira College Butiki ye yasitukidde mu kirabo ky’omuzannyi asinze sso nga ye Gift Fred Mutalya ye yasinze okulengera obutimba ne ggoolo munaana.