EBISEERA by'omu maaso eby’omuzannyi Harry Maguire tebinnamanyika mu ManU, omutendesi Erik ten Hag, bw'amuyise n'amwambula ekikomo ky'obwakapiteeni.
Omungereza ono asanze akaseera ku mulembe gwa Ten Hag era kigambibwa nti yandiva mu ManU ng’akatale k’okukyusa abazannyi kano tekannaggwaako. Okuva Ten Haga lwe yajja, emipiira egisinga obungi Maguire agitandikdde ku katebe oluusi n'obutazannyira ddala.

Maguire ng'awanise ekikopo kya Carabao Cup kye baawangudde sizoni ewedde.
Kyokka Maguire ayise mu kiwandiiko kye kimu n'ategeeza nti tekimusanyusizza kyokka ne yeebaza abawagizi ba ManU abamuwagidde nga ye kapiteeni n’asiima n’eyali omutendesi wa ManU, Ole Gunnar Solskjaer ayamulonda ku bwakapiteeni mu 2019 nga yaakava mu Leicester City.