Lwaki abazannyi Bannayuganda baddukidde mu liigi z'e bweru

Aug 14, 2023

URA FC ne Vipers SC zibadde ziperereza Wasswa abazannyire sizoni ejja wabula Banna Sports Club omwazannyirwako Bannayuganda okuli; Denis Masinde Onyango, Robert Odongkara ne Ismail Watenga n’emupaaza. Bannayuganda abalala abaali bazannyiddeko Banna Sports Club kuliko; Boban Ziritusa Bogere, Krizestom Ntambi, Derrick Nsibambi, Yasser Mugerwa, Posnet Omony, Hannington Kalyesubula n’abalala.

NewVision Reporter
@NewVision

Abazannyi ba liigi ya wano olulabye nga ttiimu ze babadde bazannyiramu zitandise kukansa bagwira, nabo ne basalawo okugenda ku pulo okunyoonya ttiimu mwe bazannyira. Abazannyi bana okuva mu liigi ya StarTimes Uganda Premier League, be bakyasembyeyo okufuna ttiimu ebweru.

Omuteebi wa KCCA FC, Rogers Mato eyabeegattako mu 2021 ng’ava mu Proline FC endagaano y’emyaka ena gye yassaako omukono tagirinze kuggwaako n’afuna ddiiru emututte mu Sanliurfa Spor Kulubu eya Turkey.

Sizoni ewedde Mato ye yasinga okuteebera KCCA FC ne ggoolo 11 ate nga yeteebera Cranes bwe yali emegga Tanzania (1-0) mu z’okusunsulamu amawanga agalizannya empaka z’ekikopo kya Afrika. Eno ggoolo yali ya mugaso ennyo bwe yakomyawo essuubi lya Uganda okuweza obubonero 4 bw’erina kati. Cranes omwezi ogujja yaakuttunka ne Niger mu kampeyini y’emu.

Mu ngeri y’emu KCCA FC yayongezzaayo endagaano y’ebbanja ey’omuzibizi Ibrahim Juma ng’azannyira Club Deportivo Leganes eya Spain. Ono yeegatta ku ttiimu eno sizoni ewedde wabula KCCA FC yabadde erina okumukomyawo naye ne basaba yeeyongereyo omwaka.

Mu balala, Geoffrey Wasswa omu ku bazannyi abaasinga okwolesa omutindo mu kisenge kya KCCA FC naye yeegasse ku Banna Sports Club eya Ethiopia ku ndagaano ya myaka ebiri.

Mugulusi (wakati) ng'akulukuta n'omupiira.

Mugulusi (wakati) ng'akulukuta n'omupiira.

URA FC ne Vipers SC zibadde ziperereza Wasswa abazannyire sizoni ejja wabula Banna Sports Club omwazannyirwako Bannayuganda okuli; Denis Masinde Onyango, Robert Odongkara ne Ismail Watenga n’emupaaza. Bannayuganda abalala abaali bazannyiddeko Banna Sports Club kuliko; Boban Ziritusa Bogere, Krizestom Ntambi, Derrick Nsibambi, Yasser Mugerwa, Posnet Omony, Hannington Kalyesubula n’abalala.

Mu ngeri y’emu, musaayimuto Ismail Mugulusi abadde omuwuwuttanyi wa Makedonikos FC eya Greece, yeegasse ku Clube Desportivo Feirense eya Portugal. Mustafa Kizza, Luwaga Kizito, Alex Kakuba be Bannayuganda abalala abaali bazannyiddeko Clube Desportivo Feirense.

Abazannyi Bannayuganda bano okwabulira liigi ya wano kijjidde mu kaseera nga nga ttiimu za wano ennene okuli Vipers ne KCCA zikutte kkubo lya kukansa bazannyi bagwira. KCCA yaleese bazannyi nzaalwa z’e Brazil ne Angola sso nga Vipers yasinze kukansa Bacongo n’Ababrazil.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});