Eng'onge eriddewo Embogo ku fayinolo y'Ebika
Aug 28, 2023
Embogo yazze mu mupiira guno ng'erwana kuwangula Engabo eyookuna okwegatta ku lwe baagiwangula mu 1950, 2015 ne 2019. Abawagizi b'Embogo omwabadde ne pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu 'Bobi Wine' byabaweddeko Eng’onge bwe yafunye ggoolo bbiri ez’amangu mu kitundu ekisooka ng’eyita mu Ronald Ssekiganda mu ddakiika y'e 12 ne Richard Ssonko mu ya 29, ezaabawadde obuwanguzi.

NewVision Reporter
@NewVision
Fayinolo y'Ebika;
Embogo 0-2 Eng’onge
Mu kubaka;
Ngeye 37-36 Nnyonyi Nyange
Ogw'ekyokusatu;
Nseenene 4(3)-(3)5 Mutima Musagi
GGOOLO za bazzukulu ba Kisolo (Abengonge) mu kitundu ekisooka, zaabayambye okusitukira mu Ngabo y’emipiira gy’Ebika by’Abaganda omulundi ogusooka bwe baakubye Embogo (bazzukulu ba Kayiira ku fayinolo.
Guno gwabadde mulundi gwakubiri ng’Eng’onge etuuka ku fayinolo mu byafaayo by’emipiira gino, ng'ogwasooka gwaliwo mu 1993, Enkima bwe yabakuba.
Bazze nga bayisibwamu amaaso era nga bangi basonze ku Mbogo okuwangula wabula baaswazizza abasunzi bwe bannyogozza Eng'onge mu maaso ga Kabaka ne bawangula ggoolo 2-0.
Kabaka ng'abuuza ku bazannyi b'Embogo
Embogo yazze mu mupiira guno ng'erwana kuwangula Engabo eyookuna okwegatta ku lwe baagiwangula mu 1950, 2015 ne 2019. Abawagizi b'Embogo omwabadde ne pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu 'Bobi Wine' byabaweddeko Eng’onge bwe yafunye ggoolo bbiri ez’amangu mu kitundu ekisooka ng’eyita mu Ronald Ssekiganda mu ddakiika y'e 12 ne Richard Ssonko mu ya 29, ezaabawadde obuwanguzi.
Fayinolo eno yabadde mu kisaawe e Wankulukuku wakati mu nnamungi w'abantu eyazze okulaba ku Kabaka. Yeetabiddwaako ne Katikkiro Peter Mayiga, Abalangira David Wassajja ne Richard Ssemakookiro, baminisita b'e Mmengo, abataka abakulu b'obusolya, ababaka ba Palamenti n'ebikonge ebirala.
Mi mirala egyazannyiddwa, Omutima Omusagi gwasitukidde mu kifo ekyokusatu oluvannyuma lw’okukuba Enseenene (5-4) eza peneti oluvannyuma lw'okulemagana (3-3) mu ddakiika 90. Engeye yeddiza eky’okubaka bwe yakubye Ennyonyi Ennyange (37-36) ate Emmamba Namakaka n’ekuba Enkima ku gw'ekyokusatu.
Sula ‘Malouda’ Matovu (Owengabi Ensamba ne Shakib Mayanja, Owomutima Omusagi baagabanye engatto y’omuteebi nga baasibaganidde ku ggoolo 7). Mu ngeri y'emu, Jovan Mawejje (Embogo) yaweereddwa eky’omusambi eyasinze mu mpaka, Vivian Nagawa (Nkima) yawangudde eky’omuzannyi w'okubaka ate Rachael Nanyonga (Nnyonyi Nnyange) n'atwala eky'obuteebi.
No Comment