ABADDE omuteebi wa Vipers, Cromwell Rwothomio awonye akatebe okumwokya bwe yeegasse ku NEC FC abakyali abagole mu liigi ya babinywera eya StarTimes Uganda Premier League.
Omuzannyi ono yatadde omukono ku ndagaano ya mwaka gumu ng’abazannyira sizoni eno abayambe okumalira mu bifo by’oku mwanjo.
Wabula ku Vipers, ebintu bibadde tebitambula bulungi olw’obuvune obwamulemesa okwaka kwe kusalawo okufuna ttiimu endala gy’azannyira. Sizoni ewedde, abateebedde ggoolo ssatu.
NEC FC baakasuumuusibwa mu liigi ng’amaka gaabwe gasangibwa Bugoloobi wabula nga bakyaliza Lugogo emipiira gya liigi. Mu mupiira ogwasoose e Kakyeka, baamezze bannyinimu aba Mbarara City (1-0).