Leero mu StarTimes Uganda Premier League (ssaawa 1:00 ekiro);
Vipers – Arua Hill, Kitende
Ekisooka, bukya Arua Hills eyingira liigi tekubanga ku Vipers e Kitende era bannyinimu baakulwana okukuuma likodi eno.
Arua Hills ya sizoni eno yalabise nga nnafu olw’okuviibwako abazannyi 7, era singa ekuba Vipers, kijja kuswaza bannyinimu.
Ekyokusatu, Vipers balina abazannyi ab'obumanyirivu abayaayaana okuwangula naddala ku ttiimu ezitali bulungi.
Mu nsiike eno, abazannyi 4 okuli, Livingstone Mulondo, Hillary Mukundane, Patrick Mbowa, Fumador Asiwome ne Fabien Mutombora tebasuubirwa kuzannya olw’obuvune.
Omutendesi wa Vipers Omubrazil, Leonard Neiva naye ali ku kigezo okukola obulungi awangule liigi okutaasa omulimu gwe. Vipers yawanduddwa mu za CAF Champions League era ekikubagizo kyabwe kya kweddiza liigi.
VIPERS EKYABULAMU;
Yagguddewo na kukuba Gadaffi ku bugenyi (2-1) kyokka enzannya yaayo teyamatizza bulungi.
Milton Karisa ne Mohamed Ekbad be baateebedde Vipers kyokka baagumazeeko beetaasa olwa bannyinimu okubassaako akazito ne guggwa ggoolo (2-1).
Wabula Neiva agamba nti balina okuwangula Arua Hills kuba beetaaga okulaga nti bamalirivu ku kikopo era asabye abawagizi okuwa ttiimu obuwagizi.