Ndejje Elites yeefuze ebirabo bya volleyball w'abakazi

Sumayiyah Ndagire ye yasinze abazibizi, Phiona Nazite n’asinga mu kuteekawo emipiira egyavuddemu obubonero ate Maureen Mwamura ye yabadde omuzannyi w’empaka era eyasinze okukola obubonero obungi.

Ttiimu ya Ndejje eyazannye.
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#National Volleyball Club Championship #Ntare School #Ndejje Elites #OBB Queens #Vision Volleyball Club

National Volleyball Club Championship

Ndejje Elites 3-1 Sport-S

TTIIMU ya yunivasite y’e Ndejje ey’abakazi ba volleyball (Ndejje Elites) babinuka masejjere bwe beefuze ebirabo ebisinga nga bawangula ekikopo kya kiraabu z’eggwanga zonna ekyakomekkerezeddwa ku wiikendi mu disitulikiti y’e Mbarara.

Baabadde ku ssomero lya Ntare School gye baakubidde Sport-S ku fayinolo (3-1) ne beenaazaako amaziga ga sizoni ewedde bwe baakubwa OBB Queens (3-1) ku semi.

Ng’oggyeeko okuwangula ekikopo kye babadde baakoma okutwala mu 2021, omulundi guno empaka baazeefuze abazannyi baabwe basatu bwe baasukkulumye.

Sumayiyah Ndagire ye yasinze abazibizi, Phiona Nazite n’asinga mu kuteekawo emipiira egyavuddemu obubonero ate Maureen Mwamura ye yabadde omuzannyi w’empaka era eyasinze okukola obubonero obungi.

Ndejje Elites okutuuka ku fayinolo yaggyeemu Vision Volleyball Club (VVC) ku bugoba 3-0. Kati balindiridde kukiikirira Uganda mu mpaka za volleyball eza kiraabu empanguzi mu Afrika. Zisuubirwa kuzannyibwa mu March omwaka ogujja e Tunisia.

Jonathan Winyi atendeka Ndejje Elites agamba nti obuwanguzi buno bwabongedde embavu z’okutandika liigi y’eggwanga nga bamalirivu. Sizoni ewedde ekikopo kyabayise mu myagaanya gya ngalo bwe baawandukidde ku semi, omulundi guno omutendesi akyeweredde.

“Abazannyi baataddewo omutindo omulungi era tetugenda kuddiriza muliro, twagala liigi etandike nga tukyayokya,” Winyi bwe yategeezezza.

Sport-S, KAVC, Kasese Municipality, Bishop Stuart, Ndejje, ESPOIR, UCU, ELYON, VVC, UPDF, NEMO, St. Charles Ntinda, KCCA, MYVC, Nkumba ne COBAP ze zeetabyemu.