Buganda esse omukago n'ekitongole ekirondoola omutindo gw'eddagala

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Obwakabaka bwakukolagana n'ekitongole ekivunanyizibwa ku ddaggala mu ggwanga (National Drug Authority) okulambika abasawo b'ekinnansi.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Obwakabaka bwakukolagana n'ekitongole ekivunanyizibwa ku ddaggala mu ggwanga (National Drug Authority) okulambika abasawo b'ekinnansi.

Mayiga agamba nti eddagagla ly'ekinnansi likola era lijjanjaba abantu bangi kyokka lyonoonebwa abasawo bano olw'obwebindu bwebaliteekako ne bava ku mulamwa gw'okujjanjaba abantu.

Katikkiro mu kifananyi n'abamu ku balungu ba NDA

Katikkiro mu kifananyi n'abamu ku balungu ba NDA

Obw'ebindu buno Mayiga yategezezza bubeeramu okweraguza, okugamba abawereddwa eddagala okugenda ku malaalo,bbo benyinni abasawo okugamba nti bebajja okwambulula abalwadde baabwe naddala abakyala byonna ebifundikira nga biraga okweyagaliza kw'abamu ku basawo bano n'obulimba.

Bino yabyogeredde  ku mukolo Obwakabaka kwebwateredde omukono ku ndagaano ne NDA ey'okukolaganira awamu okutumbula eby'eddagala mu ggwanga nga gwabadde Bulange-Mmengo ku Lwokubiri October 17,2023.
"Ffe ng'Obwakabaka ndowooza tusobola bulungi okulambika abasawo abannansi n'okutumbula enkozesa y'eddagala y'eddagala ly'obutonde  mu ngeri esaanidde. Awo  nno ffe tuli beeteefuteefu okukolagana n'ekitongole kino okulaba nti abantu abakozesa eddagala ly'obutonde mu ngeri gyetumanyi nti terina bulabe," Mayiga bweyagambye.

Katikkiro Mayiga era yategezezza nti Obwakabaka bugenda kukolagana ne NDA okwongera okukuuma n'okusimba emiti mu naddala gyekiri nti Obwakabaka bulina enteekateeka y'okusimba Ekibira Kya Kabaka.

Minisita w'ebyobulamu Cotlida Nakate ng'ayogera

Minisita w'ebyobulamu Cotlida Nakate ng'ayogera

"Ekirala nabadde Gulu ng'onatera okutuuka mu kibuga ekyo waliwo ogupande ogunene mu lulimi Olungereza nga kuliko obubaka obulagirira abantu okugula eddaggala mu bifo ebirina layisinsi. Neebuuzizza lwaki obubaka obwo tebwateekebwa mu luluo abantu b'ekitundu ekyo lwebategera. N'olwekyo obubaka obwo sisuubira nti butuusa ekiruubiribwa kyemwagala n'olwekyo obubaka obukunga abantu busaanye buteekebwe mu nnimi abantu zebasinga okutegeera," Mayiga bweyawabudde.

Aba NDA baakulembeddwamu Ssentebe w'Olukiiko olufuzi olw'ekitongole kino, Dr. Medard Bitekyerezo ng'ono yeebazizza Kabaka olw'okusiima okubeera ambasada w'okubulirira n'okulungamya abavubuka ku biragalalagala mu ggwanga.

Dr. Bitekyerezo ategezezza ng'ekitongole kyaabwe bwekimaze okukiraba nti tekisobola kulungamya bya ddagala nga tekikolaganya na Bwakabaka na bwekityo kwekusalawo, okujja mu nkolagana n'Obwakabaka bwa Buganda.

Ye Minisita w'ebyobulamu mu Buganda, Cotlida Nakate Kikomeko ategezezza nti ebitongole by'Obwakabaka byonna byetegese okuteeka mu nkola omukago guno kubanga mukulu mu bulamu bw'abantu ba Buganda ne Uganda.

Endagaano eno ey'emyaka etaano etereddwako emikono Minisita Nakate ku lw'Obwakabaka ate  Dr.David Nahamya,Akulira ekitongole ekitongole Kya NDA

Omukolo gwetabiddwako Baminisita okuli Israel Kazibwe ow'amawulire, Hajj Amisi Kakomo ow'ebyobulimi ate ne Hajjat Mariam Mayanja owa Bulungibwansi n'obutonde saako abakungu abalala okuva mu NDA.