Paris, Bufalansa
OMUTEEBI wa Inter Miami CF, Lionel Messi aawangudde engule y’Omusambi w’omubiira asinga mu nsi yonna eya Ballon d'Or ey’omulundi ogw’omunaana.
Ono afuusi omuzannyi azannyira mu liigi y’e America asoose okuwangula engule eno newankubadde ebyasinze okumuwanguza sig ye yabikolera.
Haaland, eyateebera Man City ggoolo 52 bwe baali bawangula ebikopo bisatu mu ssizaoni ewedde, akutte kyakubiri era n’atwala n’engule ya Gerd Muller Trophy eweebwa omuteebi asinze okuteeba ggoolo ennyingi mu mwaka.
Mu balala, goolo kiipa wa Argentina, Emiliano Martinez ye yatutte engule ya kiipa eya Yashin Trophy ate Jude Bellingham owa Bungereza ne Real Madrid n’atwala eky’omuzannyi ali wansi w’emyaka 21 eyasinze.
Nga Messi tannawangula ngule eyamukwasiddwa mu kibuga Paris, ekya Bufalansa abadde yaakakiwangula emirundi musanvu, nga yatandika mu 2009, 2010, 2011, 2012, 2015, 2019 ne 2021.
Abamuddirira kuliko Cristiano Ronaldo alina engule ttaano (5), Michel Platini, Johan Cruyff ne Marco van Basten bonna abaakiwangula emirundi esatu esatu.