Ttiimu z'e Saudi zeesibiridde Smalling
Nov 20, 2023
Gye buvuddeko, ttiimu za Saudi Arabia zaasudde enkessi mu Roma nga zaagala okugula omuzannyi ono ow’emyaka 33 era abakulira ttiimu eno kigambibwa nti bakirowoozaako.

NewVision Reporter
@NewVision
EYALI omuzibizi wa ManU, Chris Smalling ayolekedde okufuuka Omungereza owookubiri okuzannyira mu liigi ya Saudi Arabia singa AS Roma mw’azannyira kati, esalawo okumutunda.
Smalling, amaze akaseera ng’ali ku buvune era tasuubirwa kuddamu kuzannya ng’eggandaalo lya Ssekukkulu terinnatuuka.
Gye buvuddeko, ttiimu za Saudi Arabia zaasudde enkessi mu Roma nga zaagala okugula omuzannyi ono ow’emyaka 33 era abakulira ttiimu eno kigambibwa nti bakirowoozaako.
Roma yaamusanvu mu liigi ya Yitale ekulembeddwa Inter Milan wabula mu mipiira ena egisembyeyo, batabani ba Jose Mourinho tebafunyeemu buwanguzi bwonna.
Smalling yassa omukono ku ndagaano emutuusa mu 2025 ng’azannyira Roma.
Singa aneegatta ku liigi y’e Saudi, waakwegatta ku eyali kapiteeni wa Liverpool, Jordan Henderson. Ttiimu z’e Saudi ziperereza ne Paulo Dybala ne Leonardo Spinazzola.
No Comment