EXPRESS FC mukwano gw’abangi ewonyezza Alex Isabirye Musongola akatebe bw’emuwadde omulimu ng’omutendesi waabwe ow’ekiseera okutuusa nga sizoni eno eweddeko.
Eggulo Lwakuna (December 7, 2023), Express yalangiridde Isabirye ku ndagaano ya sizoni eno yokka wabula ssinga akola bulungi, abakungu baakutunulira endagaano okugizza obuggya.
Express ebadde egenze emipiira etaano nga terinaamu wiini yonna oluvannyuma lw’amaliri ga mirundi esatu (1-1 UPDF), (0-0 Wakiso Giants) ne (1-1 Bul FC) wamu n’okubwa URA (2-1) ne Maroons (1-0 Express).
Isabirye abadde amaze emyezi ena (4) nga talina mulimu oluvannyuma lw’okusuulawo Vipers SC mu July w’omwaka guno bwe yali yaakabayamba okufuuka Ssaalongo bwe baawangula ekikopo kya liigi sizoni ewedde ne Stanbic Uganda Cup omulundi ogusookedde ddala mu byafaayo.
Ono asuubirwa okutandika emirimu mu butongole leero (Lwakutaano) nga Express ekyazizza SC Villa ku kisaawe kya Muteesa ii e Wankulukuku.