Pulezidenti Museveni agumidde ku Nakivubo ne Namboole okutegeka eza Afrika

Okutegeka empaka za Afrika, kujjirako obukwakkulizo ng’akamu ku bwo kwe kubeera n’ebisaawe ebiri ku mutindo gw’ensi yonna bisatu, kati tulinawo bibiri Namboole ne Nakivubo, Ham gw’azimbye. Kati tubuzaayo kimu.

Pulezidenti Museveni ne Ham (ku ddyo).
By Michael Nsubuga
Journalists @New Vision
#Ham Kiggundu #Nakivubo #Yoweri Museveni #AFCON 2027 #Namboole #Moses Magogo

PULEZIDENTI Yoweri Museveni mumativu nti ekisaawe ky’e Nakivubo n’eky’e Namboole biri ku mutindo ogusobola okuzannyirwamu empaka za Afrika eza 2027.

Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe, Museveni yakooneddemu ebisaawe byombi bye yagambye nti biri ku mutindo ogumatiza okuzannyirwamu empaka ennene.

Nakivubo bw'afaanana kati.

Nakivubo bw'afaanana kati.

“Tulina Namboole gwe tuddaabirizza n’ayaka. Nakivubo naye waliwo munnaffe (omugagga Hamis Kiggundu) amuddaabirizza n’amufuula ow’omulembe,” Museveni bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, “Okutegeka empaka za Afrika, kujjirako obukwakkulizo ng’akamu ku bwo kwe kubeera n’ebisaawe ebiri ku mutindo gw’ensi yonna bisatu, kati tulinawo bibiri Namboole ne Nakivubo, Ham gw’azimbye. Kati tubuzaayo kimu.”

Ham mu kisaawe e Nakivubo.

Ham mu kisaawe e Nakivubo.

Nakivubo aggyiddwaako engalo

Oluvannyuma lw’okulambula ekisaawe kino omwezi oguwdde, minisita w’emizannyo, Peter Ogwanga yakubiriza abantu ssekinnoomu okulabira ku Ham ky’akoze nabo bazimbe ebisaawe okwetooloola eggwanga.

Minisita Ogwang yali akiikiridde minisita w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni era yalambula ekisaawe kino ng’ali wamu ne ssentebe wa NCS, Ambrose Tashobya saako abakungu okuva mu FUFA abakulemberwamu pulezidenti waayo Moses Magogo. Ekisaawe kino kisuubirwa okuggulwawo Pulezidenti Museveni essaawe yonna.

“Ndi musanyufu nnyo n’omulimu Ham gw’akoze okuzimba ekisaawe ekiri ku mutindo guno. Kati bwe twogera ku kutegeka empaka za Afrika eza 2027, tusobola okuwaayo Nakivubo kwe tunaagattira Namboole,” Ogwang bwe yagamba.

Ebipande by'abalanzi ebiteereddwa ku ludda lw'ekisaawe olumu.

Ebipande by'abalanzi ebiteereddwa ku ludda lw'ekisaawe olumu.

Mu kiseera kino, Uganda kye yeetaaga okussaako essira kwe kuzimba ekisaawe ekyokusatu ekisuubira okussibwa e Hoima.

“Nali ndowooza nti tujja kumaliriza Akii Bua kyokka abakungu ba AFCON bwe bajja wano ne batutegeeza nti ekisaawe kirina kubeera kumpi ne ttiimu we zitendekerwa ssaako awali ekisaawe ky’ennyonyi,” Ogwang bwe yagambye.