GGOOLOKIPA wa ManU ne Cameroon, Andre Onana kata ayungule ku zziga oluvannyuma lw’omutendesi we Rigobert Song okumusuula ku nsiike nga balemagana ne Guinea (1-1) mu mpaka za Afrika eziyindira mu Ivory Coast.
Onana, yakwatidde ManU ng’eremagana ne Spurs (2-2) ku Ssande mu Premier era olwamaze omupiira ogwo, n’afuna ennyonyi empangise yeegatte ku ttiimu ye ng’egenda okuzannya Guinea kyokka wadde yatuuse ng’ebulayo essaawa nga ziizo omupiira guzannyibwe, omutendesi we teyamulabyewo kumuwa mupiira.
Omuzannyi wa ManU ono yalabiddwaako ng’ali ku kisaawe mu nnaku etagambika era El Hadji Diouf eyaliko omuzannyi wa Senegal nga kati omu ku bakungu baayo ye yamugumizza. Senegal, Cameroon, Guinea ne Gambia bali mu kibinja C mu mpaka zino era buli omu alwana kuva mu kibinja.