ABANTU abettanira okuwuga, batera okufuna ekizibu ky’amazzi okuwagamira mu matu gaabwe ne gabamalako emirembe, oluusi n’okubaleetera endwadde z’amatu.
Bw’otambulira mu nkuba ennyingi, kyangu okufuna ekizibu ky’amazzi okukugenda mu matu. Amazzi gano geetaaga okulwanyisa ne gava mu matu nga bukyali, nga tonnaba kufuna buzibu.
Okusinziira ku Dr. Heather Coffman, omukugu mu ndwadde z’amatu, ennyindo n’emimiro, ng’asinziira ku mukutu gwa https://www.bannerhealth.com agamba nti amatu agalimu envumbo, kyangu kya kuwagamiramu amazzi era singa togaggyaamu mangu, osobola okufuna yinfekisoni mu kutu, n’ekuleetera ebizibu mu matu.
Singa weesanga mu mbeera ng’amazzi gakuyingidde mu matu, Coffman agamba nti sooka okkakkane, weebake wansi nga okutu okuwagamiddemu amazzi okutunuzza ku ttaka, ojja kuwulira ng’amazzi gagenda gakulukuta mpolampola paka bwe gaggwaayo mu kutu okwo.
Oba si ekyo, funa ekintu ky’ogaaya, nga bw’onyeenya ku mutwe gwo. Amazzi bwe gawagamira mu kutu kwo fuba okulaba ng’otambuza emimwa n’oluba lwo kiyambe amazzi agali mu kutu okufuna we gayita okufuluma, ng’omaze okugateerawo embeera egatambuza.
Weewale okukozesa engalo zo, obuti obuliko ppamba, oba ebintu ebirala okusokoola amatu kubanga oyinza okugongerayo ate ebyandibadde bifuluma, n’obyongerayo n’ofundikira ng’oyasizza engoma y’amatu. Bwe bigaana genda mu ddwaaliro.