Akulira emirimu mu Brighton era nga ye mumyuka wa ssentebe wa ttiimu eno, Paul Barber agambye nti tebagenda kupapa kutunda muteebi waabwe Evan Ferguson.
Omuzannyi ono y’omu ku bamusaayimuto abatunuuliddwa ttiimu ennene mu Premier ne Bulaaya okutwaliza awamu olw’omutindo gw’assaawo wabula Brighton egamba nti yaakusooka kwetegereza nga tebannamulyamu ssente.
Okuva omuzannyi ono lwe yava mu akademi ya Brighton mu 2021, yaakateeba ggoolo 16. Sizoni eno ateebye ggoolo za Premier mukaaga.
Chelsea, ManU ne ttiimu endala mu Premier ze zisinze okumwesimbamu zimugule.