EYALI ssita wa Brazil, Ronaldo de Lima yeewuunyisizza abawagizi, bw'alonze abazannyi 8 abaakasinga okumuzannyira omupiira n'aleka Cristiano Ronaldo ebbali.
Ronaldo, 47, yazannya omupiira wakati wa 1993 ne 2011, mu Barcelona, Inter Milan, Real Madrid ne AC Milan nga ku ttiimu y'eggwanga (Brazil) yazannya emipiira 98 mwe yateebera ggoolo 62. Mu kiraabu, yateeba ggoolo 352 mu mipiira 518.
Mu bazannyi be yalonze, yeetadde mu kisooka n'addirirwa Diego Maradona, Lionel Messi, Yohan Cruyff, Franz Beckenbauer, Pele, Marco van Basten ne Ronaldinho.
Wadde nga Cristiano Ronaldo yaakateeba 891 ku myaka 38, Ronaldo de Lima yagambye talina w'asembererera ttuluba ly'abazannyi be yalonze.
Ng'oggyeeko Cristiano Ronaldo, bassita abalala abataalowoozeddwaako ku lukalala lwa Da Lima kuliko; Michel Platini, Alfredo Di Stefano, Zinedine Zidane, George Best ne Ferenc Puskas abamu ku bawagizi be bagamba nti waakiri bandibaddeko.