Poliisi eyimirizza omukolo gw’abakyala e Katooke

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
Mar 10, 2024

Bya Wasswa b. Ssentongo

POLIISI eremesezza bannakibiina kya NUP ababadde bategese omukolo gw’abakyala e Katooke mu munisipaali y'e Nansana.

Omukolo guno gubadde gutegekeddwa kkansala w'ekitundu kino, Sulayiman Lubuuka ng'ali wamu ne Kkansala w'abakyala ku Nansana munisipaali, Mary Immaculate Namanda ng'omukolo guno abakyala bangi babadde bagwetabyeemu nga guliko  ebyemizannyo  n'empaka ez’okufumba emmere.

Abategesi ababadde bamaze okuteekawo weema n’obutebe, poliisi ebadde ekulembeddwaamu atwala poliisi y'e Katooke Moses Baturi bwe bazze ne babiwamba era ne babalagira okwamuka ekifo awaali essomero lya Ark omukolo wegubadde gulina okubeera.

Kino kinyiizizza abakyala ne batandika okwogerera waggulu nga bagamba nti poliisi ensonga ezirabye bubi waakiri yandibadde ebakirizza ne bakuza olunaku lwabwe kuba bangi babadde beesunze okugyaganya naye kati poliisi ebakoze bubi nnyo.

Kansala w'abakyala, Mary Immaculate Namanda yagambye poliisi eringa eyeekubidde kuba omukolo gw'abakyala bonna si gwa bannakibiina kya NUP era buli omu abadde muyite.

Kansala Lubuuka agambye nti poliisi abadde yagitegeezaako ku nsonga zino kyokka ne bagaana okumuddamu era ye abadde alina essuubi nti bagenda mu maaso n’omukolo gwabwe.

Bano kye bakoze bagenze we bafumbidde emmere nga beemulugunya era ekizeeko kwe kutandika okulya emmere ebadde etegekeddwa ku mukolo gwabwe.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Oyowesigyire agambye nti omukolo guno tegubadde mu mateeka era tebabadde na bbaluwa okuva eri poliisi ebakkirizza okugenda nagwo mu maaso.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});