Okugema omusujja gw’enkaka kutandise na bbugumu

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
Apr 03, 2024

OKUGEMA omusujja gw’enkaka (Yellow Fever) kwatandise na bbugumu mu disitulikiti 53 okwetooloola Uganda.
Okugema kwa kumala ennaku mukaaga okuva eggulo ku Lwokubiri nga April 2 okutuuka ku Mmande ejja nga April 8, 2024.
Mu Kampala okugema kwatandise bulungi era ng’ebikozesebwa byatuuse mu budde newankubadde awamu kwataataaganyeemu olw’enkuba.
Okugema kwabadde mu bifo nga, ppaaka za ttakisi, siteegi za boda, obutale ne ku nguudo ez’enjawulo okusobola okwanguyiza omuntu ayagala okugemebwa.
KAWEMPE: Eno okugema kwajjumbiddwa nga kwatandise na kusomesa bakulembeze, abasawo ne bawabula ku bantu abatasaanye kugemebwa era ne boogera n’emigaso egiri mu kwegemesa.
Dr. Annet Kisaakye yannyonnyodde nti baakugema okuviira ddala ku baana ab’emyezi 8 okukoma ku myaka 60 n’agamba nti omuntu omulwadde takkirizibwa n’abo abaakyusibwa obusomyo, abali ku ddagala lya kookolo, ekibumba n’omutima wamu n’abo abafuna obuzibu nga balidde amagi tebakkirizibwa kugemebwa.
Mmeeya Emmanuel Sserunjogi yasabye abantu obutatya kugemebwa.
MUKONO: Abakulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Mukono be baatongozza okugema mu bitundu eby’enjawulo ne balabula okufufuggaza bannabyabufuzi abatandise okuvumirira enteekateeka eno n’okugaana abantu okugyetabamu.
Akulira ebyobulamu e Mukono, Dr. Steven Mulindwa yategeezezza nti balina ddoozi ezimala okugema abantu 530,000 mu Mukono n’agamba nti abasawo baakutalaaga amasomero ag’enjawulo aga siniya, pulayimale ne yunivasite n’akikkaatiriza nti okugema kuno kwa kubeera ne ku buli malwaliro ga gavumenti.
RDC Fatumah Ndisaba yakalaatidde abantu okujjumbira enteekateeka eno kubanga gavumenti egitaddemu ensimbi nnyingi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});