Eby'okuyimbula Nnamwandu wa Katanda bijulidde

Margaret Zalwango
Journalist @Bukedde
Apr 09, 2024

OMULAMUZI Isaac Mwata agaanye okuyimbula Namwandu w'omusuubuzi Katanga , amulagidde yetegekera okuwulira omusango okunatandika nga July 4,2024.

Molly Katanga 54, yasaba kkooti emuyimbule ng’ayita muba looya be n'ategeeza nti mulwadde olw’ebisago byeyafuna ku lunaku bba Henry Katanga lweyafa nga yetaaga okufiibwako okwenjawulo ebweru we kkomera.

Bannamateeka ba Molly Katanga nga bakulembeddwa Peter Kabatsi ,McDusman Kabega n’abalala baategeeza kkooti nti ono mukazi akuze mu myaka , mulwadde nnyo ate mwetegefu okugondera kkooti ng’era tajja kutataganya bujulizi n'okunonyereza kwoludda oluwaabi.

Kyokka omulamuzi Muwata agambye nti Molly Katanga yategeeza nga bwali omulwadde ng’asaana okufiibwako okwenjawulo kyokka teyaleeta bbaluwa okuva mu kkomera eraga nti abamakomera tebasobola kumujjanjaba.

Omulamuzi yeesigamye ku musango oguvunaanibwa omubazi w’ebitabo Francis Onebe avunaanibwa okutta mukazi we omulambo n’agusuula mu kinya ky’akazambi, eyaleeta amweyimirirra kyokka oludda oluwaabi lwali lumaliriza okunonyereza ngera lwetegefu okuwulira omusango kkooti bwetyo ne gaana okumuyimbula.

Bwatyo amulagidde yetegekere okuwulira omusango ng'oludda oluwaabi bwerwasaba.

Molly Katanga yaleeta minisita omubeezi ow’ebyobujjanjabi obusokerwa Margaret Muhanga ,Geofafrey Kamuntu , John Patrick Kaboyo ne Gen Emmanuel Nyamunywanisa ngabamweyimirira kyokka byonna omulamuzi tabitunuulidde.

Namwandu ono avunaanibwa okutta bba Henry Katanga ate bawala be bavunaanibwa okutataganya obujulizi, n’okukweka abagambibwa okuzza omusango.

Katanga yattibwa nga November 2,2023 mu maka gaabwe e Mbuya mu munisipaali ye Nakawa.

Bawala be abavunaanibwa kuliko Martha Nkwanzi ne Patricia Kakwenza wamu n’omukozi w’awaka George Amanyire ne Dokita Charles Otai nga bano omulamuzi muwata yabayimbula ku kakalu ka kkooti

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});