Bannamakolero bemulugunyizza ku musolo

Edith Namayanja
Journalist @Bukedde
Apr 13, 2024

EKIBIINA ekitaba bannamakolero ki Uganda Manufacturers Associations kitegeezezza nti omusolo ogw’ebitundu 5 ogugenda okubatekebwako ku ttaka gwakubafuumula mu bizinensi kubanga ettaka lyetagibwa okuzimbibwako ate nga bagenda okuligula nga lijiddwako omusolo nga tebasobola kugusasula ate buli mwaka.

Mu misolo empya gavumenti gyeyaleese mu bbago lya Tax Amendment Bill 2024, waliwo erya Exercise Duty Amendment Bill nga akawayiiro 5(A) katunulidde okugya omusolo ku non-business assets gwa bitundu 5 ku 100 gwebagamba nti guno apaana okugusasula.

Munsisikano abakulira ekibiina kino gyebabaddemu n’akakiiko ka palamenti ek’eby’ensimbi akali mukutunnulira ensonga zino, bagambye nti gavumenti afazaali yandibyagyemu ekitundu kimu kyokka kubanga era egya omusolo ku babulooka b’ettaka n’abalitunda era nga bino byonna bitunnulira ono agula ettaka.

Deo Kayemba, ssentebe wa UMA agambye nti guno omusolo gwaletebwa dda era nga gukola mu bibuga ne mu munisipaali nga yebuuza lwaki ate gwatekebwa mu bitundu ebimu byokka.

Kayemba era agambye nti kyannaku nti gavumenti okukola emikole nga tesoose kukkanya nabo kubanga ate bwebanadduka mu buzinensi, abalimi ababatunza ebintu bajja kubulwa akatale

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});