Ekkanisa ekoze pulojekiti okuwa abavubuka emirimu

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
Apr 13, 2024

ABAVUBUKA abasukka mu 1,000 mu bitundu by’e Kajjansi okutuuka e Nkumba baakufuna emirimu egiteetaaga bukugu. Kino kiddiridde Ekkanisa ya St. Mark Sekiwunga mu Busumba bw’e Kitende mu busaabadinkoni bw’e Ntebe mu Bulabirizi bw’e  Namirembe okutandikawo pulojekiti ez’enjawulo. Ekkanisa eno ng’eri wamu n’aba Rotary Club y’e Kajjansi ne Nkumba nga bayambibwako bannamikago okuva mu Yitale baatongozza omulimu gw’okuzimba ekkolero eryongera omutindo ku kasasiro w’ebintu bya pulasitiika.
Pulojekiti eno yatuumiddwa ‘Youth Economic Empowerment Through Plastics Recycling’. Omumyuka wa Katikkiro owookubiri era omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa
Nsibirwa mu kutongoza okuzimba ekkolero kino yasabye abavubuka mu kitundu okweyambisa omukisa guno okwegobako obwavu. Mu kifo kye kimu Ekkanisa yataddewo
ffaamu y’ente enzungu ng’obusa obuva mu lugo bweyambisibwa okukola amasannyalaze ga Biogas

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});