Muk’omugagga wa Nabisere Hotel e Kaliisizo aziikiddwa

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
Apr 14, 2024

KAABADDE kaseera ka nnaku mu maka g’omugagga Emmanuel Ssewankambo nnannyini Nabisere Hotel e Kaliisizo ng’abadde mukyala we, Teddy Josephine
Nakakeeto Ssewankambo aziikibwa.
Nakakeeto yaziikiddwa ku kyalo Kamaggwa e Kaliisizo mu disitulikiti y’e Kyotera ku mukolo ogwetabyeeko Minisita wa Micro Finance, Haruna Kyeyune Kasolo, ba RDC okwabadde Jane Kagaayi ow’e Ssembabule, Teopista Mbabazi omubeezi ow’e Kyotera,
Ssentebe wa disitulikiti y’e Kyotera, Patrick Kintu Kisekulo n’abalala bangi kwossa abasuubuzi n’abagagga ab’enjawulo.
Obwakabaka bwa Buganda bwakiikiriddwa Pookino Jude Muleke, Omumyuka wa Pookino Rose Nalubowa kwossa Pookino eyawummula, Vincent Ssebowa Mayiga n’abalala bangi.
Omukolo gw’okuziika gwatandise n’ekitambiro kya Mmisa ekyakulembeddwa Msgr.
Dominic Ssengooba ng’ono yakiikiridde Omusumba w’essaza ly’e Masaka, Bp. Serverus Jjumba ne bannaddiini abalala.

Seca okuggyako obutakola ku  aamu naye yabeeranga ku njegere nga banne. Abaasoma n’omugenzi Nakakeeto (mu katono waggulu) nga bassa ekimuli ku ssanduuko mu kuziika.

Seca okuggyako obutakola ku  aamu naye yabeeranga ku njegere nga banne. Abaasoma n’omugenzi Nakakeeto (mu katono waggulu) nga bassa ekimuli ku ssanduuko mu kuziika.


Mu kuyigiriza, Msgr. Sengooba yayogedde ku mugenzi Teddy Josephine Ssewankambo ng’abadde omukozi ateebalirira, ayagala eddiini ye, ate ow’enkulaakulana ne yeebaza bba okumukwata obulungi n’okumusobozesa okukola.
Abaana b’omugenzi mu kwogerako eri abakungubazi bayogedde ku mukwano nnyaabwe gwabadde abalinako nti baakugusubwa mu bulamu bwabwe kuba abadde bulijjo abalambika mu nneeyisa n’ebirala kw’ossa okufaayo okubalambulanga mu
masomero gye basomera.
Omugagga Ying. Pius Mugerwa Mugalaasi owa Ivy’s Hotel e Wakaliga yasiimye abantu abababeereddewo ku kaseera kano akazibu nti kuba okufa kwa Teddy Josephine Ssewankambo kwabakubye wala olw’okuba teyabadde mulwadde!
Pookino eyawummula, Vincent Ssebowa Mayiga yatendereza omugenzi ng’abadde yawa essanyu ku kyalo Kamaggwa olw’okukwata ku nkulaakulana y’abakyala n’okubayigiriza okukola.
Pookino Jude Muleke yasabye abaana okufuba okutambulira mu mukululo nnyabwe gwabadde abalambikamu era n’abasaba okugumira ku taata waabwe
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});