Museveni agguddewo Nakivubo n’asiima omutindo

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
Apr 26, 2024

PULEZIDENTI Museveni agguddewo ekisaawe ky’e Nakivubo ekizimbiddwa Omugagga Hamis Kiggundu gwe yasabye Bannayuganda abalala okumulabirako
n’okukoppa obumalirivu n’okwekkiririzaamu.

Museveni yalagidde nti tewabaawo omuntu yenna ataataaganya Kiggundu mu kuddukanya n’okusolooza ssente ze z’atadde
mu kuzimba ekisaawe kino. Yagambye nti Kiggundu alina okuddukanya ekisaawe kino okumala emyaka 49 ng’asolooza ssente eziva ku miryango ne bizinensi zonna eziri ku kisaawe n’agamba nti emyaka 49 bwe giriggwaako nga gavumenti yeddiza ekisaawe na byonna ebikiriko.
EKISAAWE KIRI KU MUTINDO GWA AFRICA - MUSEVENI
Museveni yagambye nti musanyufu bya nsusso kubanga bamukakasizza nti ekisaawe
ky’e Nakivubo kituukana n’omutindo ogulagirwa abaddukanya omupiira mu Africa
era kisobola okuzannyirwamu emipiira egya AFCON n’egiri ku mitendera emirala.
“Ndi musanyufu nti kati  ulina ekisaawe kino, tulina Namboole, kati njagala tuweze ebisaawe 4 ebiri ku mutendera gw’ensi yonna,” Museveni bwe yagambye.
Museveni yagguddewo ekisaawe kino ku mukolo ogwetabiddwaamu abakungu ba gavumenti n’abakungu b’ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA abaakuliddwaamu Ying. Moses Magogo.
EBIZZE BIBAAWO KU KISAAWE
1. Nga February 20, 2024, minisita w’ebyenjigiriza era mukyala wa Pulezidenti, Janet Museveni yalambula ekisaawe ky’e Nakivubo n’atendereza Kiggundu olw’okukola omulimu ogw’amaanyi ennyo, n’agatta ettoffaali ku byemizannyo bya Uganda.
2. Uganda bwe yaweebwa omukisa okukyaza empaka za AFCON eza 2027, ng’eri
wamu ne Kenya ne Tanzania, Nakivubo kye kimu ku bisaawe ganda bye yawaayo okubyekenneenya kisobole okukyaza egimu ku mipiira.
3. Nga March 7, 2024, abakungu b’ekibiina ekiddukanya omupiira ku lukalu lwa Africa ekya CAF, baalambula Nakivubo okulaba oba kituukiridde okukyaza empaka za Africa mu 2027. Guno gwali mulundi gwakusatu ng’ogwasooka gwaliwo mu July 2023, ne Feruary 2024.
4. Nga January 20,2024, Ham yakyaza omumyuka wa Pulezidenti w’e Namibia Netumbo Nandi Ndaitwah, n’amusaba ttiimu y’e Namibia y’eba eggulawo ekisaawem kino, ng’ezannya omupiira ogw’omukwano ne Uganda.

KITUUZA ABANTU 20,000 Omwaka oguwedde, omugagga Hamis Kiggundu yasisinkana Pulezidenti Museveni, n’amwanjulira omutendera ogusooka ogw’ekisaawe kino, nga kya kutuuza abantu 20,000. Kiggundu yannyonnyola nti omutendera gw’ekisaawe ogwokubiri bwe gunaaba guwedde, kyakutuuza abantu 35,000. Abalabi b’omupiira baakutuula mu mitendera ena okuli: VVIP, VIP, Executive Boxes ne Ordinary. Abatuula mu ‘Executive Boxes, bajja kuba banjawulo kubanga entebe zaabwe zaakubeeramu emitto, ng’oli bw’asasula akasenge kano atuulawo n’abantu b’ayagala bokka omuli ffamire ye oba bagagga banne nga tebasukka 20.
Ekisaawe era kiriko ebirabo by’emmere, eddwaaliro ly’abazannyi, obusenge  mwe bambalira n’okuwummulira bwa ttiimu nnya, kaabuyonjo ez’omulembe abasambi n’abatendesi ze banaakozesa, obusenge bw’abaweereza emipiira ku leediyo ne ttivvi, Cinema bbiri enene buli emu ng’etuuza abantu 150.
Kuliko emiryango egifuluma ekisaawe egiwera kkumi, kw’ogatta eminene ggaggadde ena egiyingiza abantu n’okufuluma. Kuliko ebifo ebisukka mu munaana we basasulira tiketi, kuliko lifuti nnya ezinaayamba abaliko obulemu okuyingira mu kisaawe, jjiimu abantu mwe bakolera dduyiro, gattako ekisaawe ky’abazannyi b’ebikonde, Netball, Volley ball n’emizannyo emirala. Kapeti ey’ekizungu abazannyi kwe bazannyira omupiira yavudde Turkey, nga kati kirinze kukyaza mupiira gwakyo ogusooka.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});