Biibino ebivaako emmotoka okunywa amafuta agasusse

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
Apr 30, 2024

EBBEEYI y’amafuta ennaku zino ewalirizza bangi okuva ku mmotoka ez’amaanyi ne bagula eza yingini entonotono basobole okumalako n’embeera. Wabula abamubeesanga tekibakoledde.
Ying. Emmanuel Aleti, owapoliisi eyeekebejja ebidduka (Inspector of Motor Vehicles - IOV) e Naggulu agamba nti ng’oggyeeko yingini yammotoka okubeera ey’amaanyi, waliwo ebintu ebirala ebivaako emmotoka okunywa amafuta agasukkiridde. l Mmotoka etekyusa bulungi ggiya oba ddereeva atamanyi nkyusa yaazo ntuufu kyongera ku bungi
bw’amafuta g’enywa. Emmotoka bw’ekozesa ggiya enzito ekozesa amaanyi ga yingini mangi era bwe kiba ne ku mafuta.
l Okunywa amafuta amatono ne gaba nga gayuugayuuga mu ttaka naddala nga ttanka eyingiza empewo gafuumuuka naddala nga ga petulooli.
Drake Mwesigwa, omukugu mu bya yingini za mmotoka eza dizero ne petulooli mu Ndeeba agamba nti emmotoka erina okunywa amafuta okusinziira ku lugendo lw’etambudde wabula oluusi gasukka ng’obuzibu buva ku bintu ebyenjawulo.
l Ekisinga mu byonna gw’e muliro gwa mmotoka kw’etambulira. Gy’okoma okugulinnya, nayo gy’ekoma emisinde nga n’okunywa amafuta kw’okutadde.

l Embeera y’amakubo oluusi kwe kusinziira amafuta g’ekozesa.
Oluguudo bwe luba lwa nsozi, nga luseerera oba nga mulimu ebitaba by’amazzi emmotoka okuyita mu bifo nga bino ekozesa amaanyi mangi era n’amafuta enywa mangi.
l Yingini y’emmotoka bw’eba ennafu nga kino oluusi kiva ku kulwawo kugikola saaviisi omubaokukyusa woyiro, ‘oil filter’ n’ebirala eba n’amaanyi matono mu ntambula yaayo nga kino kitegeeza kunywa amafuta agasukkiridde olw’amaanyi amangi g’ekozesa
okutambula.
l Singa mmotoka epipira ng’obuzibu buva ku pulaaga za yingini okubeera enfu n’ebirala nakyo kivaako okunywa amafuta
agasukkiridde.
l Emipiira omuli omukka omutono nakyo kyongera mmotoka okunywa amafuta naddala eri abatambula eng’endo empanvu.
l Okuzimba emmotoka naddala eri abo abazongerako ebyuma okudda waggulu n’amabaati okusobola okutikka ebyamaguzi ebiwera kivaako okunywa amafuta
agawera. Ku mmotoka ze bongeddeko obuwanvu, zitawaanyizibwa empewo ezisika nga zitambula. Kino kikosa entambula ya mmotoka era okutambula obulungi ekozesa amaanyi ne kyongera ku mafuta g’ekozesa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});