Abakulembeze b’abasuubuzi balaze kye bazzaako

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
May 09, 2024

ABAKULEMBEZE b’abasuubuzi balaze kye bazzaako oluvannyuma lw’ensisinkano gye baabaddemu n’omukulembeze w’eggwanga mu kisaawe e Kololo ku Lwokubiri.
Ssentebe wa KACITA, Thadius Musoke yagambye nti baavudde e Kololo ng’essuubi libaweddemu, kyokka ng’abakulembeze tebayinza kuzikiza okutuusa ng’olutabaalo luwedde.
Yagambye nti ekirungi kyokka kye baafunye ye Pulezidenti okulagira baggyewo ebibonerezo ebibadde biweebwa olw’obutakozesa nkola ya EFRIS naye ebisigadde tebaafunyeemu.
“Gavumenti erina okukimanya nti enkola ya EFRIS twagigaana kuba erondoola bizinensi zaffe ppaka mu byenda. Tubeera tutya nga bw’okola amagoba nga bayingirawo, kyokka nga bwe tufiirwa tebatulabawo” Musoke bwe yagambye.
Balina enteekateeka z’okulaba nga baddamu okumatiza Pulezidenti kuba wandiba nga waliwo abamuwa amawulire amakyamu.
Bamaze okufuna abakugu ababaze ekiwandiiko ekinnyonnyola ensonga zaabwe obulungi kye bagenda okuwa Pulezidenti lwe baddamu okumusisinkana ng’abakulembeze.
“Olaba Pulezidenti baamusibye omukyala nga bamulimbye nti yali asuubula e China. Kyokka bye yannyonnyodde nga biraga nti yagendayo kugula mijoozi gya kunoonya bululu!” Musoke bwe yeewuunyizza.
Amagezi Pulezidenti ge yabawadde ag’okwenyigira mu bulimi n’okuzimba amakolero, gaabadde malungi wadde nga bonna tebayinza kwenyigira mu mirimu egyo kuba walina okubaawo awagira munne.
Musoke agamba nti omusuubuzi bw’akola amagoba n’agejja yeesanga ng’alina kukola kkolero nga Gaster Lule Ntake bwe yakola nga tewali asoose kumugamba. Ng’abasuubuzi kye beetaaga y’enkola ebasobozesa okukola ssente kuba mu kiseera kino Gavumenti tebayambye kimala.
Bangi beewola ssente ne bazimba ate ne bafundikira nga bbanka zibitutte. Abasuubuzi bandyagadde ebateerewo ensawo esobola okubayamba nga bafunye obuzibu ne bayambibwa. Pulezidenti era baamusabye yeekenneenye abantu abamuwabula
abamulowoozesa nti amata galinga dizayini z’engoye ezikyuka buli kaseera.
John Kabanda ssentebe w’abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya FUTA yagambye
nti baatawaanidde bwereere ne yeewuunya aba URA bye baagamba Pulezidenti kuba yazze ng’alaga nti si mwetegefu kuva ku bye baamugambye.
Kino kyalabikidde mu kubeera nga yabadde tamanyi nti EFRIS okumubala bakozesa
yintanenti. Ebizibu byabwe byonna omukulembeze yalaze nti si nsonga ate nga
n’amagezi gaabawa tegasoboka.
Ensonga y’omusuubuzi okusasula VAT bw’aba awezezza akawumbi okuva ku bukadde 150 eziriwo mu kiseera kino yabadde etegeerekeka bulungi. Kyokka kyewuunyisa okuba ng’omukulembeze teyatawaanye kugyogerako.
“Ekiseera kino tuli mu nkiiko mwe tusuubira okufuna eddoboozi limu ku kye tulaba ekinaataasa omusuubuzi. Essaawa yonna tujja kulangirirako ekiddako era abasuubuzi basigale nga bagumiikiriza” Kabanda bwe yagambye.
Godfrey Katongole, ssenteb  w’abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya Kampala Arcade’s Traders’ Association (KATA) era amyuka ssentebe wa FUTA, yagambye nti ekyabaviirako okuggalawo amaduuka tebaakifunye.
Yagambye nti bagenda kusooka kusisinkana abasuubuzi bonna babannyonnyole ebyasalidwaawo kye bitegeeza olwo balyoke balabe kye bazzaako.
Edward Ntale ssentebe w’abasuubuzi aba United Traders Entrepreneurs Association (UTEA) yayawukanye ku ndowooza y’okuddamu okuggalawo amaduuka. ‘Osanga omukulembeze naye bwe yazzeeyo ne yeebaka yasobodde okulaba obulumi bw’abasuubuzi nga w’anaddira nga June 20, okuddamu okwogera eriabasuubuzi ajja kuba alina ansa eyamba n’olwekyo nze nteesa tusigale nga tukolera ku poliisi bondi’ Ntale bwe yagambye.
Yategeezezza nti ensisinkano ya pulezidenti baabadde bagisuubiramu bingi naye byonna tebaafunyeeko. Kino
kyandiba nga kyavudde ku kutabiikiriza ebintu ebingi ng’ebimu byabadde bipya ng’ekyekitongole ekirondoola omutindo ekya UNBS kye baagambye nti kirina obukwakkulizo obulemesa bizinensi entono.
“Pulezidenti ebibuuzo byamususseeko, ndowooza y’ensonga lwaki teyafunye kyakutuddamu kimatiza essaawa eyo n’atugamba nti wakuddamu okutusisinkana nate. Katukiwe ekitiibwa tusigale ku mirimu kubanga era okuddamu okuggalawo tekugenda kuddamu kutuwa nsa yonna” Ntale bwagamba.
MUSEVENI AYAGALA URA EYONGERE OKUBANGULA ABASUUBUZI
 Museveni bwe yabadde e Kololo yasabye ekitongole kya URA kyongere okusomesa
abasuubuzi enkola ya EFRIS era batandike okukozesa amasimu gaabwe okugibala abateesobola bave ku buuma. Enkola ya Gavumenti ku misolo yagambye nti ng’enderere nga tebaggya misolo ku bintu bitundibwa bweru wa ggwanga. Yawadde abasuubuzi abasuubula ebintu ebweru okutandika amakolero mu ggwanga n’okwenyigira mu bulimi. Pulezidenti yasuubizza okuddamu okusisinkana abasuubuzi nga June 20, 2024 kyokka nga waakusooka kusisinkana bakulembeze baabwe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});