Lukwago asiibuddwa okuva mu ddwaaliro e Buyindi

Williams Ssemanda
Journalist @Bukedde
May 10, 2024

LOODI Meeya wa Kampala, ssaalongo Erias Lukwago asiibuddwa okuva mu ddwaaliro e Buyindi nga wa kutuuka mu Uganda ku ssaawa 9:00 ez’emisana.

 

Ng’asinziira ku kisaawe kya Doha International Airport, mu nsi ya Qatar, Lukwago atadde ekifaanyi kye ng’atudde ku katebe ne kkeesi ye n’akiwereekereza ebigambo eby’okwebaza Katonda olw’okujjanjabwa n’asiibulwa mu ddwaaliro nga mulamu.

Lord Mayor ng'ali e Buyindi

Lord Mayor ng'ali e Buyindi

 

Lukwago baamulongoosa ku Mmande ewedde mu ddwaaliro lya Fortis Memorial Hospital erisangibwa e Buyindi mu kibuga New Delhi gye baamulongoosezza nga bamuggyamu obumu ku bubebenu obunyweza amagumba obubadde bwakutuka nga bumulumisa omugongo.

Kyokka abasawo baamutaddeko obukwakkulizo obw’amaanyi okuli  obutakyusakyusa nsingo wadde okukola ekintu kyonna ekiyinza okutaataaganya omugongo ssaako obuteetantala kwetaba mu nsonga za mu kisenge okumala emyezi etaano

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});