Ekiragiro kya kkooti ku Mufti Mubajje kibakubaganya empawa

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
May 12, 2024

EKIRAGIRO kya kkooti enkulu e Jinja ku musango oguvunaanibwa Mufti Shaban Mubajje kitabudde abawagizi be n’abaamuwawaabira nga buli omu akitaputa bubwe.
Kyaddiridde omulamuzi Faridah Bukirwa okulagira enjuyi zombi eziri mu musango guno okukakasa nga bassa mu nkola ekiragiro ky’omulamuzi Alexandra Nkonge Rugadya kye yawa nga January 16, 2024 ng’ayimiriza obutateeka mu nkola ebyali bisaliddwawo olukiiko lwa General Assembly olwa UMSC olwatuula nga December 16, ne 17, 2023 ku Gangu Muslim Primary School.
General Assembly yatuulira ku kiragiro ky’omulamuzi Bukirwa eyayimiriza Sheikh Shaban Mubajje ku bwamufti ne bamusikiza Sheikh Abdallah Ssemambo nga Mufti ow’ekiseera.
“Nziramu okuwa ekiragiro n’okukkaatiriza ebiragiro ebyaweebwa omulamuzi Nkonge, nti ebyasalibwawo birina okusigala nga bwebiri, okutuusa nga Kkooti esazeewo ekyenkomeredde’, Omulamuzi Bukirwa bwe yalagidde ku Lwokubiri lwa wiiki eno.
Kyaddiridde bannamateeka booludda oluwawaabirwa okuli; Magoola & Court Advocates ne Nalukoola & Solicitors okwemulugunya ew’omulamuzi nga Mubajje bwazze avvoola n’okutyoboola ebiragiro ebyayisibwa kkooti enkulu ng’agoba abantu nga bwayagala nga yeeyambisa ofiisi y’obwa Mufti. Omulamuzi Bukirwa, yalagidde
enjuyi zombi okukomawo mu kkooti nga May 15, 2024 ku ssaawa 3:30 ez’oku makya batandike okuwulira omusango guno, ogw’engassi.
Omumyuka wa Ssaabawandiisi wa UMSC, Muhammad Aluma yabadde asabye kkooti ebaweeyo emyezi ebiri ng’omusango tegunnawulirwa bamale okufuna ba puliida kuba be baalina okuli;
Adam Kibwanga ne Musa Kabega kkooti yabagoba mu musango. Kino omulamuzi yakigaanye n’agamba nti si waakugwongezaayo.
Mu musango guno Mufti Mubajje ye yaddukira mu kkooti ng’ayagala etunule mu ngeri
ttabamiruka w’Abasiraamu gye yatuuzibwamu e Gangu omwava n’ekiteeso ekimugoba ku bwamufti bwa Uganda.
BULI LUDDA LUTAPUSE BYALWO
Munnamateeka Luyimbaazi Nalukoola yagambye nti omulamuzi Bukirwa yalagidde ekiragiro kya mulamuzi munne Nkonge ekyalagira embeera esigale nga bwe yali esangiddwa mu kiseera ekyo. kiteekebwe mu nkola.
Yajjukizza nti ekiragiro kya Nkonge kyayimiriza kwongera kuteekesa mu nkola  ekyokutuuza Sheikh Ssemmambo ku bwa Mufti.
Kyokka tekyayimiriza kyakugoba Mubajje mu ofiisi era mu kiseera kino ofiisi abeera agirimu mu bukyamu.
“Mu kiseera kino Sheikh Mubajje talina kuddamu kukwata ssente za UMSC ng’aziryamu ebicepere kuba ofiisi yagifuluma dda. Ne byabadde akola ng’agenda agoba abantu obuyinza tabulina kuba General Assembly eyatuula mu butuufu
yamugoba era bye yasalawo tewali kkooti yali ebiyimirizza,” Nalukoola
bwagamba.
Yagasseeko nti okusaba kwabwe kwabadde kutegeerekeka bulungi kuba baasabye kkooti Mubajje aleme kuddamu kweyita Mufti wa Uganda era kkooti n’ekikkiriza.
Nalukoola yagambye nti omusango gujja kubanguyira kuba Mubajje yaguloopa mu bukyamu kuba yeeyita Mufti kyatali. Singa yali ayagala kuloopa yandikikoze ng’omuntu Shaban Mubajje. Okuva lwe yawakanya nti bamugobye yasigala mugobe okutuusa lwe banaawulira omusango ne guggwa.
ABA UMSC BAZZIZZA OMULIRO
Ashraf Zziwa Muvawala, omwogezi wa UMSC yeewuunyizza ekyasanyudde Nalukoola ne banne kuba omulamuzi tannalagira Sheikh Mubajje kuva ku bwa Mufti. Singa bwe kyabadde kwandibaddeko ekiragiro kya kkooti ekiyisibwa ku nsonga eno. Ekyalagiddwa omulamuzi Bukirwa kyabadde kinyweza ekyasooka okuyisibwa omulamuzi Nkonge eyayimiriza byonna ebyali bisaliddwawo olukiiko lwa General
Assembly olwatuula e Gangu. “Omulamuzi yalagidde embeera esigale nga bweri nga Sheikh Shaban Mubajje ateredde mu ntebe ye ey’obwa Mufti wa Uganda okutuusa ng’omusango guwedde okuwulirwa,” Zziwa bwe yagambye. Zziwa yagambye nti omusango bajja kuguwangula kuba n’abantu abasatu okuli; Yudaya Babirye,
Buruhan Saamanya ne Hussein Ssimbwa abaawawaabira UMSC ra ne basaba okutuuza General Assembly tebaliiyo era tewali yali abalabyeko. Ekirala ekimwewunyisa kwe kuba nga kkooti yalagira General Assembly etuule bawandiike lipooti gye baalina okuzza mu kkooti ekwata ku nzirukanya y’ebintu by’Obusiraamu. Kyokka ate beetumiinkiriza mbu ne bawummuza Mufti Mubajje ekintu kye batasabangako kkooti.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});