Bungereza efulumizza olukalala lw’abanaazannya Euro 2024, Rashford asuuliddwa

Wilson Ssemmanda
Journalist @Bukedde
May 21, 2024

OMUWUWUTTANYA wa ManU, Marcus Rashford tasomeddwa mu lukalala olusooka olw’abazannyi 33 abagenda okuyingira enkambi bakiikirire Bungereza mu mpaka z’amawanga ga Bulaaya eza Euro 2024 ezigenda okuyindira e Germany.

Rashford 26, takoze bulungi mu sizoni eyaakafundikirwa ng’ateebedde ManU ggoolo musanvu zokka n’ennyamba bbiri mu mipiira gya liigi 33 gy’azannye.

 

Abanene abalala abasuuliddwa kuliko eyali kapiteeni, Jordan Henderson, Raheem Sterling .

Mu 33 abalondeddwa kuliko: 

Bagoolo kiipa: Dean Henderson (Crystal Palace), Jordan Pickford (Everton), Aaron Ramsdale (Arsenal), James Trafford (Burnley).

Abazibizi kuliko: Jarrad Branthwaite (Everton), Lewis Dunk (Brighton), Joe Gomez (Liverpool), Marc Guehi (Crystal Palace), Ezri Konsa (Aston Villa), Harry Maguire (Man Utd), Jarell Quansah (Liverpool), Luke Shaw (Man Utd), John Stones (Man City), Kieran Trippier (Newcastle), Kyle Walker (Man City).

Abawuwuttanyi: Trent Alexander-Arnold (Liverpool), Conor Gallagher (Chelsea), Curtis Jones (Liverpool), Kobbie Mainoo (Man Utd), Declan Rice (Arsenal) ne Adam Wharton (Crystal Palace).

Forwards: Jude Bellingham (Real Madrid), Jarrod Bowen (West Ham), Eberechi Eze (Crystal Palace), Phil Foden (Man City), Jack Grealish (Man City), Anthony Gordon (Newcastle), Harry Kane (Bayern Munich), James Maddison (Tottenham), Cole Palmer (Chelsea), Bukayo Saka (Arsenal), Ivan Toney (Brentford) ne Ollie Watkins (Aston Villa).

Bungereza egenda kuzannyira mu kibinja C omuli amawanga nga Serbia, Denmark, ne Slovenia.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});