Mbale Heroes erwana kwenywereza mu 'Super'

Jul 15, 2024

Gye buvuddeko, ttiimu eno ebadde n’okusika omuguwa wakati waayo ne bannamawulire era abamu bo babadde baagisuulawo nga tebategeeza bawagizi baayo bigikwatako.

NewVision Reporter
@NewVision

TTIIMU ya Mbale Heroes olugendo lw’okusigala mu liigi ya ‘Super’ sizoni ejja erutandise na kunyweza nkolagana yaayo ne bannamawulire.

Gye buvuddeko, ttiimu eno ebadde n’okusika omuguwa wakati waayo ne bannamawulire era abamu bo babadde baagisuulawo nga tebategeeza bawagizi baayo bigikwatako.

Abakulira ttiimu eno baayise abaamawulire ne bawayaamu ku nsonga ze ezaabatabula beemenya era ne basaba bazzeewo enkolagana yaabwe. Omwaka oguwedde, bakanyama ba ttiimu eno bagambibwa nti baakuba bannamawulire 2 bwe baali Bagenze okusaka amawulire ku mupiira gwabwe ne Kataka.

Amyuka pulezidenti wa Mbale Heroes, Badru Chemusito Bado era yagambye nti beetaaga okwerabira okusika omuguwa okubaddewo banyweze enkolagana ne bannamawulire. Mbale Heroes y’emu ku ttiimu ezeesogga ‘super’ ssaako Lugazi FC ne Police.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});