Bannayuganda banyumiddwa ekivvulu kya Lord Fred Sebatta ku Serena Hotel
Dec 15, 2024
OMUMYUKA wa Katikkiro wa Buganda asooka, Hajji Twaha Kawaasi awabudde abayimbi abato okulabira ku bayimbi abakulu mu nnyimba ze bafulumya era n’akubiriza abayimbi abakulu okukwata ku migigi emito nabo baveemu abayimbi ab'omugaso.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUMYUKA wa Katikkiro wa Buganda asooka, Hajji Twaha Kawaasi awabudde abayimbi abato okulabira ku bayimbi abakulu mu nnyimba ze bafulumya era n’akubiriza abayimbi abakulu okukwata ku migigi emito nabo baveemu abayimbi ab'omugaso.
Omumyuka wa Katikkiro Kawaase ng'ayogera mu kivvulu kya Sebatta
Kawaase yatenderezza omuyimbi Lord Fred Sebatta olw’okuyiiya n’okuyimba ennyimba ez'amakulu ezirimu ebigambo ebisabike era n’akuutira abayimbi ne bannabitone bonna okukozesa ebitone n’obwongo bwe balina basitule obulamu bwabwe n’okutwala eggwanga mu maaso.
Bino yabyogeredde ku woteeri ya Serena mu Kampala bweyabadde y’etabye ku kivvulu ky’omuyimbi Lord Fred Sebatta eky’emyaka 42 mu kisaawe ky’okuyimba. Era yategeezezza nti Obwakaba bwa Buganda bwenyumirizannyo mu Ssebata olw’okusomesa abantu ba Kabaka ng'ayita mu nnyimba.
Sebatta ku siteegi yalinnyeeko ssaawa 3:00 ez’ekiro wakati mu mizira okuva mu nnamungi w’omuntu eyabadde ajjudde ku Serena nga kwabadde kwolesa bitone na buyiiya.
Omukung'aanya w'olupapula lwa Bukedde Ahmed Mukiibi naye yabaddeyo ng'anyumirwa omuziki gwa Lord Fred Sebatta
Sebatta ayimbidde abantu Enyimba ze zonna layivu okuli, Nabawanuika, Enjawulo y’abafumbo, Baana bange, Nalwewuuba, Enkubi Terimba, Dole y’Omwana n’endala ez’accamude ennyo abacakaze.
Ono obweda buli luyimba lwayimba ng’oyinza okulowooza nti mufulumye Serena n’abatwala mu kifo weyaluyimbira anti nga buli luyimba emabega ku sikuliini bateekawo ‘setup’ egendera kwekyo kye baabade bayimbiramu okwabadde ey’amaka, mu kyalo, mu lusuku n’ebirala wama abantu ne banyumirwa.
Yabadde ne banne aba Matendo Band okuli Justine Nantume, Harriet Sanyu, Maama Kinene, Christopher Ssebadduka, Professor Han Ssensuwa n’abalala okwo ssaako omuyimbi David Lutalo ng’ono Sebatta yamuyise mu butongole ayimbe oluyimba lwa Mpaawo Atalemererwa lweyaddamu.
Ekivvulu kyabadde kya babedde era bakira balinnya ku siteegi ne bafukirira Sebatta n’abayimbi abalala ssente ez’awano n’enzungu wabula mu kanyomero kano omu ku baasanyudde abantu ennyo ye Lutalo omusimbi gwonna gwe baamufuuye mu luyimba lwa Mpaawo Atalemererwa zonna yafukamidde wansi n’asizikwasa ssebatta.
Suuna Ben ne Mbaziira Tonny nga banyumirwa omuziki gwa Sebatta
Abayimbi abato oba abaliwo essaawa eno baalaze nti bannyumirwa enyimba enkadde nga bano okuli Big Eye, Walukagga, Maureen Nantume, Weasel, Bruno K, Pasita Wilson Bugembe, Lydia Jasmine n’abalala baabaddewo era obwedda balinnya ku siteegi ne bapokera Sebatta ne banne ssente.
Ekivvulu ky’etabiddwako abakukkunavu okwabadde abakulembeze b’enono, bannabyafuzi, abasuubuzi, bannabitone n’abalala.
Nga kuno kwabaddeki minita w'ebyamawulire mu Bwakabaka bwa Buganda Israel Kazibwe Kitooke, Ssabaganzi Emmanuel Ssekitooleko, Hajji Mutaasa Kafeero, omubaka Kayemba Solo, meeya Mathias Walukagga, omusuubuzi Advan Mbabazi ayagala okwesimbawo ku kifo kya memba wa palamenti e Ruhaama East County e Ntungamo n’abalala.
Sebatta nga basanyuse abantu ku Serena
Sebatta y’ebazizza abantu bonna abaamuwagidde n’ategeeza nti kye yalabye ku bungi bwa bantu abazze okumuwagira yabadde takisubira nga ye alowooza takyasobola okuddamu kutegeka kivvu wadde ekye 5000/- abantu ne bajja ne bamulaba.
No Comment