Leero mu liigi ya yunivasite
UCU – YMCA e Mukono
LIIGI ya yunivasite eddamu leero nga UCU (Uganda Christian University) ettunka ne YMCA (Young Men’s Christian Association mu lutalo lw’okwesogga ‘quarter’.
Bali mu kisaawe e Mukono nga bombi benkanya obubonero 5 mu kibinja C ekikulembeddwa St. Lawrence (10) ate UCU ne YMCA (5) olwo Kabaale n’ekoobera ku bubonero (4).
St. Lawrence yayitamu dda nga kati banoonya anaakola obulungi mu kifo kyokubiri okugenda ku ‘quarter’ era ogwa leero mukulu nnyo eri ttiimu zombi kuba gwe bawangula omukisa guggwaawo.
Mu gwasooka e Buwambo, baakola 0-0 nga guno gulimu n’okwesasuza. Ensiike ya leero, UCU egiyingira erinako obuweerero bwe yawuttudde Kabaale University (5-1) sso nga YMCA yatandise bubi bwe yakubiddwa St. Lawrence (3-1).
Omutendesi wa UCU, Jimmy Kintu yategeezezza nti guno gwa kufa nakuwona kuba obuwanguzi babwetaaga nnyo era mu kutendekebwa bakoze buli kye basuubira okubawa obuwanguzi.
Omutendesi wa YMCA, Allan Katwe yagumizza abawagizi baabwe nti wadde bali ku bugenyi, yakimye bubonero era babulinde.