OMUTEEBI wa club ya Liverpool, Mohamed Salah kyaddaaki asazeewo okusigala ku Liverpool bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri(2) eneemusigazaawo okutuusa mu June wa 2027.
Mo Salah 32, endagaano eno egizzizza buggya leero ku Lwokutaano ng'amawulire gano gafulumiziddwa kiraabu ya Liverpool etegeezezza nti emwenyumirizaamu era ekakasa nti ng'ali nayo ya kwongera okuwangula ebikopo.
Mu kiseera kino, Liverpool ekulembedde ekimeeza kya Premier n'obubonero 11 ng'ebuzaayo emipiira musanvu eggwe.
Kati Salah agenda kuba n'omukisa okwongera ku ggoolo 243 ne asisiti 109 ze yaakakola mu mipiira 393 gy'asambidde Liverpool.