Newcastle efukiridde Crystal Palace amagoolo ne yeesogga eky'okusatu
Apr 17, 2025
KKIRAABU ya Newcastle eyongedde okwenyweza ku kimeeza kya Premier League, bw'ekunkumudde Crystal Palace ggoolo 5-0 mu 'ggolu' lye baazannye mu kiro ky'Olwokusatu n'ewanulayo Nottingham Forest mu kyokusatu.

NewVision Reporter
@NewVision
KKIRAABU ya Newcastle eyongedde okwenyweza ku kimeeza kya Premier League, bw'ekunkumudde Crystal Palace ggoolo 5-0 mu 'ggolu' lye baazannye mu kiro ky'Olwokusatu n'ewanulayo Nottingham Forest mu kyokusatu.
Abazannyi Ba Newcastle United mu Kifaananyi Oluvannyuma Lw'okuwangula Omupiira.
Newcastle ebadde yaakafuntula Manchester United ggoolo 4-1, ne ku gwa ggyo we yakoma we yatandikidde ng'eteeba ggoolo okwabadde eya Jacob Murphy, Harvey Barnes, Fabian Schar ne Alexander Isak ssaako eya kyeteeba, omuzibizi wa Palace, Marc Guehi gye yeeteebye.
Guno gwawezezza emipiira mukaaga (6) nga Newcastle ewangula buwanguzi mu mpaka zonna ze yeetabyemu mu kiseera nga n'omutendesi waabwe Eddie Howe ali ku kitanda mu ddwaaliro gy'ajjanjabibwa ekirwadde kya pneumonia.
Isak Ng'awaga Oluvannyuma Lw'okuteeba.
Kino kitadde Newcastle mu kifo w'esingira Chelsea owoomukaaga obubonero mukaaga bulamba, nga kigyetaagisa kubeera mu bataano abasooka okukiika mu mpaka za Champions League sizoni ejja.
Bino we bijjidde nga Newcastle yaakamala okuwangula ekikopo kya Carabao, ekyasoose mu myaka 70, bwe yakubye Liverpool ggoolo 2-1, ng'omumyuka w'omutendesi Jason Tindall agamba nti kyawadde abazannyi baabwe amaanyi g'okusigala nga bawangula.
No Comment