SLAU temanyi buwoomi bwa kikopo - Nkozi
Apr 24, 2025
EMYAKA esatu gye giyiseewo bukya St. Lawrence University (SLAU) ekaaba aga jjulujjulu nga Uganda Martyrs University UMU) Nkozi egikubidde ku fayinoloya Pepsi University Football League.

NewVision Reporter
@NewVision
Ssande mu UFL e Wankulukuku;
Ekifo ekyokusatu (ssaawa 5:00):
Bugema - IUIU Fayinolo (ssaawa 9:00);
UMU Nkozi - St. Lawrence
EMYAKA esatu gye giyiseewo bukya St. Lawrence University (SLAU) ekaaba aga jjulujjulu nga Uganda Martyrs University UMU) Nkozi egikubidde ku fayinolo
ya Pepsi University Football League.
Mu 2022, SLAU yazannya fayinolo eyookubiri okuva ku yasooka mu 2019 okukkakkana na Nkozi egikubye ggoolo 1-0 e Lugogo. Omupiira gwaluma nnyo SLAU eyali yeeyita kabiriiti ng'erina ggoolokipa Lawrence Kimera, n'abazannya mu maaso
okwali; David Balondemu, Saziri Nkonge, Herbert Onenerach, Martin Kikambi, Blanchar Mulamba, Fahad Aniku, Michael Kayongo, Bruno Bunyaga, Michael
Abura ne Umar Kayemba. Ku Ssande, SLAU ne Nkozi baddamu okusisinkana ku fayinolo nga ku mulundi guno bali mu kisaawe ky'e Wankulukuku.
Omutendesi wa SLAU, Davis Nnono agamba nti akubiddwa ekimala ku fayinolotagenda kuganya kumulumya gwakusatu. Wabula ku mulundi guno, Nkozi erinamu enkizo. Tennakubwamu sizoni eno ate erina abazannyi ab'obumanyirivu nga mukaaga baazannya fayinolo ya 2022 ekyabalina. Bano ye;
Saddam Okoboi, Emmanuel
Ogwang, Kyondo, Ivan Agamire, Masumbuko, ne Pius Akena. mutendesi Eric Kisuze agamba nti ekikopo bagenda kukiwangula kubanga amazzi tegalukutira gye gatakulukutirangako.
No Comment