ARSENAL ezzeeyo mu katale okuyigga omuteebi oluvannyuma lwa Kai Havertz okufuna obuvune.
Obuvune yabufunye battunka ne ManU gye baakubye (1-0) mu gwagguddewo Premier. Havertz yeegasse ku muteebi wa ttiimu eno omulala, Gabriel Jesus eyasooka okulwala.
Kati Arsenal esigadde kutunuulira, Gabriel Martinelli ne Viktor Gyokeres eyaakeegatta ku ttiimu.
Omutendesi wa ttiimu eno, Mikel Arteta yagambye nti okulwala kwa Havertz ddibu ddene nnyo kuba yeetaaga buli muzannyi nga mulamu.