Club ya NEC bagiyiyeemu kavu

General manager w’ekitongole ky’Amagye ekizimbi n’emirimu emirala ekya National Enterprise Corporation (NEC) NEC, Lt. Gen. James Mugira asiimye kkampuni ya OPPEIN etadde ensimbi obukadde 200 mu kiraabu ya NEC FC egusambira mu kibinja kya Super.

Omukungu wa NEC ng'assa omukono ku ndagaano
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision

General manager w’ekitongole ky’Amagye ekizimbi n’emirimu emirala ekya National Enterprise Corporation (NEC) NEC, Lt. Gen. James Mugira asiimye kkampuni ya OPPEIN etadde ensimbi obukadde 200 mu kiraabu ya NEC FC egusambira mu kibinja kya Super.

Ono ye yabadde omugenyi omukulu mu kuggulawo enkolagana eno n’okutongoza emijoozi emipya kkampini eno gy’ekoledde aba NEC nga kuliko n’erinnya lya kkapuni eyo ku kifuba.

Abazannyi ba NEC nga bawanise emijoozi

Abazannyi ba NEC nga bawanise emijoozi

Yasiimye kkampuni eno okulonda kiraabu ya NEC FC okugitaakamu ssente.

Obuvujjirizi buno bwanjuddwa mu kutongoza emijoozi emipya kiraabu eno gy’egenda okwambala nga kuliko akaboero k’omuvujjirizi omunene ku kifuba nga ye kkampuni ya OPPEIN etunda eby’okwewunda mu manyumba ng’esangibwa ku kizimbe kya CHINT e Lugogo ku Jinja Road.

“Omupiira mu nsi yonna gukuzibwa bavujjirizi nga bongereza ku bawagizi. Gavumenti esiima kkampuni eno olw’okuteekawo ekkolero ly’ebintu by’amasannyalaze. Gavumenti etandise okuddaabiriza ekirombe kya Kkopa e Kilembe era mujja kufuna bye mukozesa mu kiseera si ky’ewala” bwe yategeezezza.

Yasiimye n’abaddukanya kiraabu ya NEC olw’omutindo okuva mu kibinka ekya wansi, okudda ku mutiindo gw’eggwanga ate n’okuzannya kugwa Africa mu sizoni ssatu zokka,” bwe yategeezezza n’anokolayo omutendesi Hussein Mbalangu wamu n’abasambi, Marvin Kavuma, Paul Mucureezi ne Mustapha Kizza ebaayambadde emijoozi gino nga gitongozebwa.

Aba NEC nga bamaze okussa omukono ku ndagaano

Aba NEC nga bamaze okussa omukono ku ndagaano

Abakungu ba kiraabu ya NEC okuli ssentebe waayo Ying. Brian Buhanda era akulira eby’okuzimba mu kitongole kya NEC, omumyukawe, Major Edgar Ankwasa, CEO, Jonathan Okortum, James Katongana omwogezi wa kiraabu, kitunzi Mary Nansasira n’abalala.

Obuvujjirizi buno tebuliiko kkomo wabula nga busuubirwa okuzzibwa obujja mu sizoni eziddako okusinziira ku Buhanda ne maneja wa OPPEIN Sherry Shi.

Ye omutendesi Hussein Mbalangu asiimye obuvujjirizi buno n’asaba abawagizi okwettanira okugula emijoozi gya kiraabu eyongere okufuna ensimbi nga mw’eneeyitira okutumbula embeera y’abazannyi.

Ye kapiteeni Kavuma agambye nti okubeera n’omuvujjirizi ow’amaanyi kiyamba ku nsasula y’abazannyi ate nga n’okwambala obulungi kye kimu ku birinnyisa omutindo gw’omusambi mu kisaawe nga naye emijoozi agisanyukidde.