NG’AMASOMERO ganaatera okugenda mu luwummula oluwanvu, abaana abali wakati w’emyaka 7-17 balina omukisa okuzuula n’okukulaakulanya ebitone byabwe mu kisaakaate ky’ebyemizannyo ekya 'Future Stars 10-Day Multi-Sport Residential Holiday Training Camp'. Ekisaakaate kino kyakubaawo nga December 7-17, 2025 ku Gayaza Junior School ne Gayaza High School. Kyatongozeddwa ku Lwokubiri ku Gayaza Junior School nga kiwagiddwa ekitongole ky'emizannyo ku kitebe kya disitulikiti y’e Wakiso.
Abaana baakubangulwa mu mizannyo egy'enjawulo okuli; omupiira, basketball, okubaka, ttena, badminton, okuwuga, chess ne scrabble. Akulira ebyemizannyo mu kitebe ky’e Wakiso, Brian Ssenyonga, ye yabadde omugenyi omukulu era yakubirizza abazadde okujjumbira enteekateeka eno. Akulira emirimu mu kibiina ekitwala badminton mu Uganda ate nga y’akulira eby’enkulaakulana mu kibiina kya badminton ku lukalu lwa Afrika, Simon Mugabi, y’avunaanyizibwa ku nteekateeka zonna.
Katongole
Mu kisaakaate kino, abaana baakufuna omukisa okubangulwa abamu ku batendesi abasinga mu Uganda. Baakuyigirizibwa empisa, okukolera awamu, okwekkiririzaamu, okulemerako wamu n’obukulembeze, ebibayamba mu bulamu obwa bulijjo. Ng'ayogera ku mukolo gw’okutongozza ekisaakate kino, Mugabi yagambye nti, “Nze nnasooka okutegeka ekintu bwe kiti mu luwummula mu 1991. Mmanyi bulungi omugaso gwakyo mu kuzuula n’okukulaakulanya ebitone by’abaana. Abaana baakubeera n’obudde obuzannya nga bwe banyumirwa wamu n’okuyiga.” Abakulira amasomero, Sarah Kizito Tebugulwa owa Gayaza Junior ne Robinah Kizito Katongole owa Gayaza High baayanirizza enteekateeka ya Future Stars ne bagamba nti ejjidde mu kiseera ekituufu era nga balina essuubi nti yaakwongera ku nkulaakulana y’ebitone n’ebyemizannyo mu ggwanga. “Oluwummula luno luwanvu era ky’ekiseera ekituufu eri abazadde okuwa abaana omukisa okuzuula n’okukulaakulanya ebitone,” Tebugulwa bwe yategeezezza. Yawagiddwa Katongole eyagambye nti, “Ng’oggyeeko okukulaakulanya ebitone n’okukuuma obwongo n’emibiri gy’abaana nga balamu bulungi, kino ky’ekiseera okukuuma abaana baffe nga balina ebyomugaso mu kiseera ekituufu mu kifo ekituufu.”